TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensi egudde eddalu: Abeebyokwerinda bafuuka batya abakwasi b’obubaddiya mu maaso g’abalamuzi?

Ensi egudde eddalu: Abeebyokwerinda bafuuka batya abakwasi b’obubaddiya mu maaso g’abalamuzi?

By Musasi wa Bukedde

Added 15th September 2019

TWABADDE tukyewuunya abakulira ekitongole kya ISO okulemesa ababaka ba Palamenti okulambula amakomera ag’ekimpatiira, ate ne zireeta abaalumbye kkooti.

Nyiga1 703x422

Abajaasi nga banyiga Mubiru ku kkooti.

Ababaka ba Palamenti be baakonkomalizza ku muggalo gwa “Safe House” nabo ennaku yaabwe baagisibye ku mpagi, ng’eky’abasajja abaakutte looya “akabbadiya” kibasusseeko.

Engeri abeebyokwerinda abaabadde mu ngoye eza bulijjo gye bazzeemu okukwata abasibe abali ku musango gw’okutta Afande Kaweesi abaabadde beeyimiriddwa, ng’ekulowoozesa nti beebamu ku bakolera mu bibinja by’abakubi b’obutayimbwa abasuza Kampala ng’ekukunadde.

Looya James Mubiru gwe baagudde mu bulago ng’agezaako okubuuza kye baagaza abantu poliisi be yabadde eyimbudde, ne gye buli eno tanakikkiriza nti bano baabadde ba byakwerinda.

Ate nga musajjawattu tomunenya kubanga anoonya enjawulo wakati w’omusajja eyamukutte “akabaddiya” ne Young Mulo gwe yalaba mu katambi ng’agwa owa bodaboda Mulindwa mu bulago!

Mpozzi enjawulo zaabadde bbiri zokka; Akabbadiya baakamukutte misana ttuku ng’ensi ne kkooti bibeegese amaaso mpozzi n’ekyokubiri Katonda yamuyambye n’atafa kugoberera Mulindwa.

Ensi ng’enaagwa eddalu, abandikulembeddemu okussa mu nkola enfuga ey’amateeka, ate be bakulembera mu kugamenya.

Omuntu kkooti gw’ekkirizza yeeyimirirwe awoze ng’ava bweru, bw’omukwatira mu maaso ga kkooti nga n’abalamuzi bali mu madirisa balaba olutalo kafungulankete, ng’omanya eddalu terikyaliko kukubaganya birowoozo.

Eky’okukwatira abantu ku kkooti kyatandikira ku kkooti enkulu mu Kampala mu musango gwa Musasizi Kifefe (eyali muganda wa Kizza Besigye) mu 2005 ne kivumirirwa nnyo ne tulowooza nti eddalu lya “Black Mamba” likomye.

Byasirikamu katono ne bisituka bupya era ne byeyoleka nnyo mu misango gy’obutujju mwe baakwatira Dr. Ismail Kalule ow’e Ntinda kw’ossa egya Kaweesi mwe baakwatira Ahmed Ssenfuka ne bamuggunda mu mmotoka nga yaakayimbulwa kkooti y’e Nakawa.

Eddalu likula ne lifuukira ddala ekkankada, ng’abeebyokwerinda tebakomye ku kukwata bayimbuddwa, wabula ne bakozesa effujjo erisukkiridde ne batuuka n’okwambula abantu engoye ate abalala ne babatwala ng’omukka babaka mubake.

Bagenda mu maaso mu ngeri ey’obwannantagambwako era abaabadde e Kololo nga bakwata looya n’abantu abana b’abadde awolereza: baafunye embavu ezikeera ku makya ne bagumba ku kkooti y’e Nabweru ku mirimu gyegimu.

Okulaajana kw’ekitongole ekiramuzi, bannamateeka n’abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu baakusudde mu kasero nga tebalina gwe beebuuzizzaako.

Naye nga lwaki abasajja bano basuula ensi yaffe eddalu nga ne bakama baabwe balaba! Bakama baabwe bakimanyidde ddala nti ensi etambulira ku masiga asatu: Pulezidenti ne kabineti ye, Palamenti, n’ekitongole ekiramuzi.

Ekitongole kya ISO ekiketta munda mu ggwanga bwe kisiimuuliza ettoomi ku kakiiko ka Palamenti, abeebyokwerinda abalala nabo ne batyoboola ekitiibwa kya kkooti, ng’omanya eddalu terikyali lya bulijjo lifuuse kkankada lyennyini!

Abakungu mu by’okwerinda muyambe eggwanga mudde ku miramwa egirambikibwa mu semateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...