TOP

Engeri aba FBI gye beetooloola Kale Kayihura

By Musasi wa Bukedde

Added 16th September 2019

Ensonda zaategeezezza nti ebbanga Kayihura lye yamala ng’akolagana n’aba FBI lyayamba Abamerika okwongera okumutegeera n’okufuna obujulizi ku ngeri gye yakolangamu emirimu gye.

Police 703x422

Baamusemberera nnyo mu 2010 oluvannyuma lw’abatujju aba Al Shabaab okukuba bbomu e Lugogo ne ku Ethipian Village e Kansanga ne zitta abantu abakunukkiriza 80.

FBI yayamba poliisi ya Uganda okukwata abatujju era n’etandika n’okuwa poliisi ebyuma ne tekinologiya ow’omulembe nti abayambeko mu kuketta n’okulwanyisa abatujju.

Mu tekinologiya omwo kigambibwa nti nabo nga FBI kyabayambanga okugoberera ebigenda mu maaso era n’okukung’aanya obujulizi kwabanguyiranga ku nsonga ez’enjawulo.

Mu kutemulwa kwa Kagezi, aba FBI beebamu ku baasooka okuyingira mu kunoonyereza oluvannyuma lwa Kayihura okutegeeza nti batujju ba ADF be baali emabega w’obutemu obwo nga beesasuza ku Kagezi kubanga ye yali akulembedde oludda oluwaabi mu kuvunaana Abasiraamu abaali bawozesebwa emisango gy’obutujju mu kkooti y’e Kololo.

Ensonda zaategeezezza nti aba FBI baakozesa obukugu bwabwe okunoonyereza era mu nnaku ntono ne bakizuula ng’obutemu tebwalina kakwate ku butujju, ne babivaamu nga bakoze ne lipoota ku bye baazuula ebyali bikuba ebituli mu.

Baali bakyali ku bya Kagezi, ate Kaweesi naye n’atemulwa. Ku mulundi ogwo era FBI yasitukiramu nga Kayihura asonze ku batujju ba ADF era bambega ba FBI baatwala ebyuma byabwe e Kulambiro ne babitwala n’e Mulago ku ggwanika, omulambo gye baagusoosa okugwekebejja.

Kigambibwa nti ne ku mulundi ogwo, aba FBI kyabatwalira ennaku ntono ne bazuula nti obutemu tebwalina kakwate ku kutemula Kaweesi era ne bakola lipoota endala ekuba ebituli mu poliisi eyali ekulirwa Kayihura.

Kigambibwa nti lipoota ezo zaanafuya nnyo ebitongole bya poliisi ebimu naddala ekya Flying Squad.

Mu March 2018 Pulezidenti Museveni yasalawo okusuula Kayihura era ekifo ky’obuduumizi bwa poliisi n’akikwasa Martin Okoth Ochola eyali omumyuka wa Kayihura.

Yalonda ne munnamagye Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi okumyuka Ochola. Kayihura bwe yabadde ayanukula ebyasaliddwaawo Amerika yagambye nti okuva lwe yaggyibwa ku buduumizi bwa poliisi, waliwo abantu abazze bamulwanyisa abaagala okulaba ng’asigala ku ttaka nga n’erinnya lye lyonooneka.

Gen. Kayihura yakwatibwa nga June 13, okuva e Lyantonde n’asimbibwa mu kkooti e Makindye nga August 24, n’avunaanibwa emisango ebiri egy’okulagajjalira emmundu ssaako okuyamba mu kuwamba bannasi ba Rwanda abaali mu Uganda ne bazzibwayo e Rwanda ku buwaze.

Bannansi ba Rwanda abazzibwayo kuliko Jackson Kalemera , Joel Mutabaazi eyali omukuumi wa Pulezidenti Paul Kagame ssaako Vicent Kaliisa nga kigambibwa nti abamu bali mu makomera ate balala battibwa.

Kkooti y’amagye g’ekubirizibwa Lt. Gen. Andrew Gutti yayimbula Kayihura nga August 28, 2018 n’amulagira obutaddamu kufuluma Kampala ne Wakiso nga tafunye lukusa ssaako okweyanjulanga buli luvannyuma lwa wiiki bbiri eri omuwandiisi wa kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...