TOP

Kayihura bamutaddeko obujulizi bwa myaka 10

By Musasi wa Bukedde

Added 16th September 2019

AMERIKA okutuuka okutabukira Kayihura kyaddiridde okuyita mu bujulizi bwa myaka kkumi egyasembayo mu buweereza bwe ng’omuduumizi wa poliisi ya Uganda.

Jangu 703x422

Kale Kayihura

Gen. Kale Kayihura, mukazi we Angella Kayihura n’abaana baabwe bonna tebakyayinza kulinnya kigere mu Amerika olw’ekiwandiiko gavumenti ya Donald Trump kye yamuyisizzaako ekimuteekako natti n’aba famire ye kw’ossa n’ebyobugagga byonna by’anaaba alina mu Amerika.

Wadde Kayihura mu kwanukula yagambye nti talina kigendererwa kyonna n’aba famire ye okusaba viza ya Amerika era teyeetaaga kugenda mu Amerika, omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda yagambye nti kuno kwegumya kubanga azze asaba olukusa okugenda okujjanjabwa ebweru w’eggwanga, amanyi atya oba abasawo be banaamaliriza bamusindise mu Amerika okufuna obujjanjabi obusingawo!

Ssemujju yagambye nti akabonero akaakoleddwa kalungi kubanga gwe baba bakakozeeko aba atya n’okugenda mu nsi endala yonna olw’okweraliikirira ebiyinza okumutuukirako eyo era ateebereza nti ne Kayihura kati alina okuba ng’alina okutya okwo.

Mu kiwandiiko Kayihura kye yafulumizza ng’ayanukula ekyasaliddwaawo Amerika okubowa eby’obugagga bye, yagambye nti talina kyabugagga kyonna mu Amerika wadde mu nsi endala yonna ebweru wa Uganda, noolwekyo okubowa tetukola makulu; wabula Kaminsona ku kakiiko k’eddembe ly’obuntu Meddie Mulumba yagambye nti ebiragiro ng’ebyo ebyayisiddwa Amerika tebikoma ku byabugagga byokka wabula n’enkolagana zonna omuntu z’aba alina n’ebitongole bya Amerika ezivaamu ensimbi ziba zirugenderamu.

Ebiragiro bino Amerika yabiyizza ku nkomerero ya wiiki ewedde. Bannabyabufuzi ab’oludda oluvuganya gavumenti bangi baasanyukidde ekyasaliddwaawo Amerika era omubaka Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa Twitter ng’ayozaayoza Amerika n’ategeeza nti kano kabeere akabonero ku bakungu bonna mu gavumenti abakozesa obubi ofiisi zaabwe, nti ekiseera kigenda kutuuka basasulire buli kye baakola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.