TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Yebbye ku mukazi we gw'alinamu abaana 2 n'ayanjula omukazi omulala mu loogi: Yasoose kumulimbalimba ne batunda ente ne poloti

Yebbye ku mukazi we gw'alinamu abaana 2 n'ayanjula omukazi omulala mu loogi: Yasoose kumulimbalimba ne batunda ente ne poloti

By Musasi wa Bukedde

Added 16th September 2019

ABATUUZE mu kabuga k’e Nassuuti mu Mukono basobeddwa omukyala bwalumbye bba mu kidaala n’amukwata amataayi oluvannyuma lw’okutegeezebwa nti abadde agenda kwanjulwa ogwokubiri mu loogi.

Gendamu 703x422

Nansumba ayayanjulidde Katende mu loogi. Ku ddyo, Nakello lwe yayanjula bba, Katende mu 2017.

Bya ERIC YIGA

Misha Nakello 26, omutuuze w’e Namumira ye yasikambudde bba, Moses Katende 35, omwogezi w’oku mikolo mu layini era ng’akola nga kitunzi mu kkampuni ya Jude Color Solution y’abako.

Omukolo gwabadde gutegekeddwa mu Mid-Mich Guest House.

Omugole Rebbeca Nansumba, muwala w’omusumba Fred ne Robinah Muyimbwa aba Bread Of Life Church e Lweza Mukono era muliraanwa wa Nakello.

Ng’olutalo terunnatandika, abamu ku booludda lw’omuwala baalabiddwa nga basobeddwa oluvannyuma lw’essaawa ze baali basuubizza okutuuka nga tebabalabako.

Zaabadde zigenda mu ssaawa 11:00 ne batuuka. Wano Nakello wa yafunidde omukisa naye okwefubitika munda ne batandika okwenyoola ne bba nga bw’amubuuza lwaki amujooga.

Wakati mu kanyoolagano kano, bakanyama Katende be yabadde atadde ku geeti baasitudde Nakello ne bamugya awaabadde omukolo wakati mu kumuyisaamu empi.

Bano beegattiddwaako mwannyina w’omulenzi, Sophia Kikadde omusuubuzi ku Nasser Road mu Kampala. Mu kavuvuhhano kano, mukyala Kikadde ate yabuukidde bannamawulire ng’ayagala okubakuba olw’okumutunuzaamu kkamera zaabwe era abapoliisi b’e Ntawo abaabadde mu ngoye ezaabulijjo be baamukkakkanyizza ne bamuggyawo.

Nakello gwe twasanze mu kifo ekimu e Mukono gye yeekwese oluvannyuma lwa bba Katende okumulabula obutamuswaza, yategeezezza Bukedde nga bba bw’aludde ng’akukuta n’omuwala ono nga yatuuka n’okumuwa ekifo ky’obwabbaasa ku ssomero lye erya St Jude P/S Idundi.

Nakello agamba nti okumanya bba mujoozi, n’endagala ze baafumbisizza emmere ya muggya we ye yazisaze ng’amulimbye nga mukwano gwe bw’alina omukolo.

Agamba nti bba yatuuse n’okutunda ente z’awaka ne poloti yaabwe akole omukolo era wano we yasabidde aboobuyinza ne minisita akola ku nsonga z’abaana n’abavubuka Nakiwala Kiyingi okuyigira mu nsonga zino.

Wabula bino byonna byabadde bigenda mu maaso ng’emikolo eri gitambula. Nakello ne Katenda balina abaana babiri era nga yamwanjula nga Septe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...