TOP

Kamoga anyiikiridde omulanga gwa Nadduli

By Martin Ndijjo

Added 16th September 2019

Muhammadi Kamoga awunya mata.mukyala we Zanei Birungi amuzaalidde ssukaali

Kamo1 703x422

Kamoga nga yeetegerezza bebbi. wakati ye Zanei

“Sirina muwendo gwa baana gwa ssalira benjagala kuzaala nze buli gwenfuna neebaza Allah kubanga waliwo bangi abanoonya okuzaala abaana ne babula….”

Bwatyo Hajji Muhammadi Kamoga omutunzi w’ettaka n’amayumba (Kamoga Property Consultants) bwe yatandise nga yeebaza Allah olwa mukyala we Zanei Birungi Kamoga gwe yawoowa gyebuvuddeko okumuzaalira ‘ssukaali’.

Mu nsonga z’amaka, Kamoga guno omwaka tegumusaze anti mu bbanga lya mwaka gumu hakki ze esatu buli omu amuzaalidde bebbi.

 amoga ne mukyala we asilah nga beetegerezza bebbi wansi ye nakawere anie Kamoga ne mukyala we Wasilah nga beetegerezza bebbi. wansi ye nakawere Zanei.

Zanei muwala w’omugagga Godfrey Kirumira (mwana wa muganda wa Kirumira) azaalidde mu ddwaaliro IHK e Namuwongo ku Lwomukaaga era maama n’omwana bali mu mbeera nungi

Bakira asitudde bebbi gwe batumye Sharuwa Kamoga nga bwagamba nti  essanyu ly’omuzadde omukyala yenna kugenda mu sannya nadda nga bombi n’omwana balamu bulungi nga Zanei.

 anie ne irumira bwe yabadde tanaba kugenda mu ddwaaliro Zanei ne Kirumira bwe yabadde tanaba kugenda mu ddwaaliro.

Mikwano gya Kamoga ne Zanei abafunye amawulire g’okuzaala abamu bagenze mu ddwaaliro okusanyukirako kyokko waliwo abamukubye olwali nti anyiikiridde omulanga gwa Nadduli anti awezezza abaana.

Mu bagenze mu ddwaaliro kwe kwabadde ne Wasilah Kamoga (mugya wa Zanei) ne Sheikh Abdu Salaam Mutyaba Imaam w'omuzikiti gw’e Kibuli eyawadde omwana omukisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...