TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Teddy ayanukudde Bugingo ku bya ssente z'akameeza

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya ssente z'akameeza

By Musasi wa Bukedde

Added 17th September 2019

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Saalwa703422 703x422

Bugingo ne Teddy

Teddy yategeezezza Bukedde nti kituufu Bugingo amuwa emitwalo 80 buli wiiki naye yalimbyemu ku ngeri gy’azisaasaanyaamu.

Yagambye nti emitwalo 20 z’agamba nti z’ateeka mu mmotoka etwala omwana ku Yunivasite e Makerere azikozesa nga Transport ng’oluusi yeesanga tezimumazizzaako na wiiki ng’omwana asembayo yekka gwe batwalira mu mmotoka y’awaka.

Yagambye nti ssinga omwana we asomera e Bulaaya alemererwa okusasula ffiizi mu budde ajja kufiirwa emyaka 3 gy’abadde asoma kuba ali mu mwaka gwe gusembayo.

Teddy yayongeddeko nti wadde emitwalo 80 Bugingo agiteeka awaka, alina okunyolwa olw’abaana be okuba nga bababanja ku ssomero ate nga kitaabwe agamba kimu nti tannafuna biwandiiko bya ssomero biraga ssente ze balina kusasula.

Yagambye nti eky’obutafuna biwandiiko alimba ggwanga kuba olunaku abaana lwe baabimutwalira ku offiisi ze, yabakuba n’abasindiikiriza nga b’atazaala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...