TOP

Embeera ya Evelyn Lagu ekanze abawagizi be

By Martin Ndijjo

Added 18th September 2019

Embeera y’omuyimbi Evelyn Lagu ekyali mbi, anoonya ssente za bujjanjabi.

Laguoo 703x422

Lagu mu kaggaali

EMBEERA y’omuyimbi Evelyn Lagu ekyali mbi, abamujjanjaba bagamba alina obuzibu bw’okussa olw’amazzi agajjudde mu mawugwe ge.

Lagu amaze akabanga nga mulwadde, mu kiro ekikesezza leero bamuddusizza mu ddwaaliro e Kiruddu oluvannyuma lw’embeera ye okutabuka.

Wadde nga leero afunyewo ku njawulo oluvannyuma lw’abasawo okumukolako, mukama we Bbosa Sserunkuma akulira ekibiina kya Zubairi family agamba embeera ye tenalongoka okussa obulungi alina kuba ku kyuma ate nga yeetaga ssente nnyingi okufuna obujjanjabi.

“Abeeranga ateredde ate wayita akaseera katono nga ataawa era mu kiseera kino abasawo bamuganye okuddamu okwogera kubanga buli lwatandika okwogera nga afuna obuzibu mu kussa.”  Sserunkuma bwanyonyodde.

Sserunkuma agamba  Lagu obuzibu yasokka kubufuna gyebuvuddeko bwe yaali agenze okuyimba e Luwero ng’ono gye bamuggya ng’embeera etabuse ne bamutwala muddwaaliro lya Malcom gye bamuweera obujjanjabi.

Yalabika nga ateredde nasibuula okudda eka kyokka oluvannyuma lw’olunaku lumu ate embeera neddamu okutabuka kwe kumuddusa mu ddwaaliro lya Henlob e Namasuba gy’abadde okumala ennaku mukaaga ng’eno gye bamugye okumutwala e Kiruddu.

Sserunkuma agasseko nti mu kiseera kino ekizibu ekirala Lagu ky’alina kya ssente za bujjanjabi era y’emu ku nsonga ezamuggye mu ddwaaliro gy’abadde  kubanga eno babadde beetaga obukadde 2 buli lunaku okumuteeka ku byuma ate e Kiruddu gy’ali beetaga emitwalo 30 buli lunaku.

Wano wasinzidde okubira abasira kisa omulanga bamuddukirire asobole okufuna obujjanjabi obwegasa  kubanga ssente ezeetagisa tazirina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sab3 220x290

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti...

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti ku misaala gy'abasomesa

Seb2 220x290

Abaana babiri okuva mu famire emu...

Abaana babiri okuva mu famire emu bafiiridde mu kidiba e Lwengo

India1 220x290

Ab’omu Buyindi bakaaye ku bayizi...

EKITONGOLE ky’ebigezo ekya UNEB nga kikyasala entotto okutangira obubbi bw’ebigezo, yo mu Buyindi bambazizza abayizi...

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa