TOP

Eyali omuyambi wa Kayihura awoza gwa ttaka

By Alice Namutebi

Added 19th September 2019

AKAKIIKO akabuuliriza ku nsonga z’ettaka kakunyizza Munnakenya era eyali omuwabuzi wa Kale Kayihura ku ngeri gye yafunamu ebyapa bya mailo ng’ate mugwiira n’okukaka omukyala okumuguza ettaka lye.

Murunga1 703x422

Murunga

Bya ALICE NAMUTEBI
 
AKAKIIKO akabuuliriza ku nsonga z’ettaka kakunyizza Munnakenya era eyali omuwabuzi wa Kale Kayihura ku ngeri gye yafunamu ebyapa bya mailo ng’ate mugwiira n’okukaka omukyala okumuguza ettaka lye.
 
Ambrose Murunga (Munnakenya) minisitule y’ebyokwerinda yamuleeta mu Uganda ng’omukugu mu bya poliisi era yali muwabuzi wa Kayihura okutuusa October 2018 kontulakiti ye lwe yaggwaako.
 
E Gayaza alinayo ekyapa kya mailo n’e Kajjansi eryali ery’omukyala Merie Margret Mary kyokka nga mu mateeka omugwiira ateekwa kuba na kyapa kya liizi so si kya bwannannyini.
 
Merie yamulumiriza mu kakiiko nti yamutiisattiisa ng’akutte emmundu n’amuggalira mu mmotoka ye namuvuga ng’amutwala ewa looya we, Geoffrey Nangumya gye baamukakira okuteeka omukono ku ndagaano y’okutunda ettaka lye eryali ku Block 293 plot 1029 e Busiro (e Kajjansi) nga takkiriziganya na ssente ze baamuwa.
 
Merie agamba nti yali ayagala ssente obukadde 700 mu kizimbe ye “money lender” gye yali ayagala okutwala lwa banja kyokka Murunga bwe yamuggalira mu mmotoka n’amutwala mu ofiisi Nangumya baamukozesa endagaano eraga nti akkiriza okutunda ku bukadde 186 kyokka ne ku ssente ze baamuwa wasigalayo obukadde 11.
 
Bwe yalabiseeko mu maaso g’omulamuzi Catherine Bamugemereire Murunga yabuuziddwa ku bye bamulumiriza n’agamba nti takwatangako mundu yadde okuggalira oba okutiisattiisa Merie.
 
Yagambye nti bakkiriziganya ne Merie ku ssente zagenda okubaguza ekizimbe basooke bamusasulireko “money lender” obukadde 130 olwo ye n’asigazaawo obukadde 56 wabula ku zino yaggyako obukadde 11 kubanga zalina okugenda ewa looya ne bbulooka.
 
Kyokka okusinziira ku ndagaano gye bakola temwalimu kawaayiro koogera ku Merie kusasula looya yadde bulooka.
 
Bwe yabuuziddwa lwaki alina ebyapa bya Mailo ng’ate mugwira yagambye nti balooya baamutegeeza nti basobola okukitereeza naye yali tamanyi nti takkirizibwa kubeera na kyapa ekyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

Kagame 220x290

E Rwanda bongezzaayo kalantiini...

Gavumenti ya Rwanda yalangiridde nti eyongezzaayo ennaku abantu ze balina okumala nga tebava waka okutuuka April...

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...

Whatsappimage20200402at65210pm 220x290

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire...

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire obukadde 500 lwa kumwonoonera linnya.