TOP

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale

By Musasi wa Bukedde

Added 19th September 2019

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi

Mbuga1 703x422

SK Mbuga ng’ali n’omuzungu akola nga looya we e Sweden.

Bya MUSASI WA BUKEDDE
 
OMUGAGGA w’omu Kampala, SK Mbuga ayolekedde okuva mu kkomera e Sweden gye yasibirwa ku misango gy’obufere oluvannyuma lw’abaamuwaabira okubulwa obujulizi mu misango egyamukwasa.
 
SK. Mbuga ng’amannya ge amatuufu ye Sulaiman Kabangala Mbuga, abamuvunaana
baabawadde nsalasale wa Lwakutaano lwa wiiki eno ku kuleeta obujulizi era bwe
balemwa ayimbulwe.
 
SK. Mbuga amaze ebbanga lya mwaka mulamba n’emyezi mwenda mu kkomera. Kigambibwa nti Mbuga ng’ali wamu ne mukyala we, Angela Vivienne Chebet beekobaana ne bafera Omuzungu ayitibwa Sten Heinsoo obuwumbi bwa ssente za Uganda 23 nga bamusuubizza okumuguza zaabu, kye bataakola.
 
Mbuga yakwatibwa mu January wa 2018 ng’ali Dubai gye baasooka okumusibira.
 
Yagezaako okusaba okweyimirirwa awoze ng’ava bweru wabula ne bagaana era oluvannyuma lw’ebbanga lya mwaka mulamba yaggyibwayo n’atwalibwa mu Sweden.
 
 uky wa buga ivienne naye yaggulwako emisango Muky. wa Mbuga, Vivienne naye yaggulwako emisango.

 

Omu ku mikwano gya Mbuga ow’oku lusegere, Abuddal Ssengooba, Bukedde gwe yayogedde naye yagambye nti buli kimu kumpi kiwedde nga kati balindiridde muntu
waabwe kudda Kampala.
 
Kyokka ensonda zaategeezezza nti wadde emikisa gya Mbuga okuyimbulwa giri waggulu, alindiridde kkooti esembayo okutuula nga September 27, 2019 esalewo eky’enkomeredde ssinga abamuwawaabira batuuka ku Lwokutaano ng’obujulizi bukyababuze.
 
Bino we bibeereddewo nga ne mukyala wa Mbuga akyali ku misango egy’enjawulo egyamuggulwako omuli; gy’okutambuza ssente mu bumenyi bw’amateeka (Money Laundering) ate nga ne gavumenti ya Sweden yamuteekako ekibaluwa kibakuntumye
kyokka ono gye buvuddeko yayimbulwa ku kakalu ka kkooti.
 
ATANDIKIRA WE YAKOMA
Omu ku mikwano gya Mbuga yagambye nti omuntu waabwe olukomawo atandikira
we yakoma kyokka ekiseera ky’amaze mu kkomera emirimu gye gyonna gizing’amye.
Mu by’obugagga bya Mbuga ebirala ebitundibwa mwe muli n’eddwaaliro lye yazimba e
Makindye mu Kiwempe zooni nga lino abadde ateekateeka kulituuma Nu Shifah Hospital.
 
Nga tebannaba kumusiba yategeeza ng’eddwaaliro bwe ligenda okumalawo obukadde bwa doola busatu n’ekitundu (mu za Uganda zikunukkiriza obuwumbi 12) nga liwedde nti era n’ebimu ku byuma eby’omulembe eby’okulibeeramu, Mbuga yali yabigula dda.
 
Mbuga yasooka kwatiikirira bwe yavuganga emmotoka ez’ebbeeyi omuli Rolls Royce, Ferrari, Cross-country, Mercedes Benz, BMW, Range Rover Sport,Vogue, Hummer
n’endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...