TOP

KCCA egobye abakulira akatale k’e Wandegeya

By Musasi wa Bukedde

Added 19th September 2019

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne banne. Lulagidde ofi isi ya dayirekita Andrew Kitaka yeddize obuyinza bwonna ku katale ako nga bwe baakola ku k’e Bugoloobi okumalawo entalo ezirimu.

Lukwago1 703x422

Lukwago mu lukiiko eggulo.

Bya HANNINGTON NKALUBO
OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne banne. Lulagidde ofi isi ya dayirekita Andrew Kitaka yeddize obuyinza bwonna ku katale ako nga bwe baakola ku k’e Bugoloobi okumalawo entalo ezirimu.
 
Eggulo Loodi meeya Erias Lukwago ne bakansala baasoose kukunya akola nga omumyuka wa dayirekita wa Kampala Samuel Sserunkuma abannyonnyole lwaki
okwemulugunya mu katale k’e Wandegeya kweyongera buli lunaku ng’abasuubuzi
balumiriza ssentebe Gitta okubaliisa akakanja naye nga tewali kikolebwa.
 
Sserunkuma yabannyonnyodde nti abadde tamanyi kyokka Lukwago n’amusomera ekiwandiiko ky’abasuubuzi abazze bamuloopera ensonga ze zimu.
 
Bakansala okuli Moses Kataabu, Alice Amony, Bruhan Byaruhanga, Baker Kawalya ne
Moses Okwera baakalambidde nti Wandegeya katale ka KCCA ate Gitta yassibwako nga omukulembeze ow’ekiseera kya myezi mukaaga naye kati agenda mu
myaka mukaaga! Kwe kubuuza nti, “ayinza atya okufuukira abasuubuzi
ekizibu!”
 
Kwe kwongerako nti, “KCCA tweddize obukulembeze nga bwe twakola ku Bugoloobi. Gitta ne banne bagobwe tulonde omuntu omulala nga bwe tulinda etteeka erifuga obutale mu Kampala, abasuubuzi bakkirizibwe okwerondera abakulembeze baabwe,”
bakansala bwe baayisizza ekiteeso.
 
Sserunkuma yakkirizza abakulembeze b’akatale okugobwa kyokka n’ategeeza nti bagenda kugoberera emitendera.
 
Kino kyasanyusizza abasuubuzi mu katale abaabadde mu lukiiko ne bategeeza nti paakingi ebadde yafuuka ya bwannannyini, abamu babaggyako amaduuka
n’emidaala, ekifo awakuumirwa abaana waggulu kyafuuka kya ssente.
 
AB’AKATALE K’E KITINTALE NABO BAKAABA
KCCA yawulirizza okwemulugunya kw’abasuubuzi mu katale k’e Kitintale ak’omu maaso (Front Market) akakulemberwa Norah Kiwummulo n’esalawo nti egenda kuteesa ne nnannyini ttaka Mw. Tumwesigye asooke ayimirize eky’okubagoba.
 
Yabadde abalagidde mu December omwaka guno bave ku ttaka lye kyokka
Sserunkuma yategeezezza nti bagenda kuteesa naye naddala ku nsonga ya ssente
abagumiikirize. Nnannyini ttaka yabongezza ssente okuva ku 1,400,000/- kati ayagala busatu buli mwezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...