TOP

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose e Hoima

By Musasi wa Bukedde

Added 19th September 2019

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Hoima.

Hoima 703x422

DPC w’e Hoima, Katumba ng’alwanagana n’abeekalakaasi.

Bya GEORGE NIYONZIMA
 
POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Hoima.
 
Entabwe yavudde ku bantu okukeera okukwata ebipande ne balumba leediyo ez’enjawulo nga beekalakaasa okulaga obutali bumativu bwabwe ku kye bagamba nti waliwo ekiragiro ekiyimiriza Nyakato okwogerera ku leediyo eziri mu Hoima.
 
Leediyo ze baalumbye kuliko, Hoima Radio, Spice ne Liberty FM nga bakumba bakutte ebipande ebiriko ebigambo nti, ‘Musumulule Nyakato’. Baabadde bakyatalaaga ekibuga, poliisi n’ebasalako n’ebakubamu omukka n’okuwandagaza amasasi ne babuna emiwabo.
Mu kavuyo ako poliisi yakutte abamu ku baabadde beekalakaasa okuli, Musa Karanzi eyeeyita Shoonman, Ibrahim n’abalala.
 
Okuvuganya okw’amaanyi mu kalulu kano kuli wakati wa Nyakato owa FDC ne Harriet Businge owa NRM.
 
Aduumira poliisi e Hoima, Christopher Katumba yategeezezza nti baakutte abavubuka bana olw’okwenyigira mu kavuyo kano.
 
Okulonda kwakubeerawo nga September 6, 2019 nga balonda okukijjuza okuva eyaliwo okukyusa n’agenda yeesimbawo mu disitulikiti empya ey’e Kikuube.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...