TOP

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu kapyata

By Dickson Kulumba

Added 19th September 2019

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka zino ekika kya TOYOTA HILUX SURF zaaguliddwa mu nteekateeka ya Katikkiro okuzza Obuganda ku ntikko n'omulembe omuggya ogwaleeteddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.

Kapyata1 703x422

Ezimu ku mmotoka za baminisita ba Kabaka empya ezaabaweereddwa.

Bya DICKSON KULUMBA
 
BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka zino ekika kya TOYOTA HILUX SURF zaaguliddwa mu nteekateeka ya Katikkiro okuzza Obuganda ku ntikko n'omulembe omuggya ogwaleeteddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.
 
Emmotoka kino ziri ku nnamba ekyali empya (UBF....) zaaguliddwa 14 era zaakuweebwa baminisita ba Kabaka 14 olwo batandike okutambuza emirimu awatali kibakugira. Omwogezi w'Obwakabaka, Noah Kiyimba nga y'omu ku baafunye ku mmotoka zino yategeezezza nti Ssaabasajja ye yasiimye enmotoka zino ne zigulibwa.
 
"Emmotoka zino twatumya 14 naye mu kiseera kino twakafunako musanvu naye n'endala zituuka ekiseera kyonna," bwatyo Kiyimba bweyalambuludde.
 
Mu balala abaafunye kapyata zino kuliko minisita w'ebyobulimi Hajji Kakomo, Mariam Namayanja owensonga z'ettaka, Henry Sekabembe Kiberu ow'abavubuka, emizannyo n'okwewummuzaamu n'abalala.
 mmotoka ya minisita oah iyimba bwefaanana emabega Emmotoka ya minisita Noah Kiyimba bw’efaanana emabega.

 

 
ZAABADDEKO AKABONERO KA BUGANDA
Mu kusooka, emmotoka zino zaaleteddwa nga ziriko akabonero ka Buganda (Buganda Emblem) akamanyiddwa nti kabeera ku mmotoka ya Kabaka yokka era zaakubiddwa ebifaananyi nga zisimbye ku Bulange e Mmengo ku Mmande ewedde nga zirina akabonero kano.
 
Ensonda e Mmengo zaategeezezza oluvannyuma lwa baminista okulaba akabonero kano, beewunaganyizzaamu nga kijja kubalabisa bulala okuvuga emmotoka okuli akabonero akamanyiddwa nti kabeera ku mmotoka emu yokka mu Buganda eya Kabaka.
 
Ekirala, n'engeri gye kaabadde kassiddwako nga tefaananye bulungi kuba kaabadde kassiddwa ku boneti ya mmotoka.
 
Kigambibwa nti oluvannyuma lw'okwegeyaamu, baasazeewo emmotoka bazizzeeyo akabonero bakaggyeko era bwe gwabadde. Bukedde yazzeemu okulaba mmotoka zino ku Lwokubiri e Bulange nga zonna obubonero bwaggyiddwako era nga bannyinizo bazisimbye bulungi mu bifo byabwe.
 
ENTANDIKWA
Ku nkomerero y’omwezi February 22, 2019), Kabaka Mutebi II yakola enkyukakyuka mu kabineti okuva ku Baminisita 25 okudda ku 14 okusobola okwanguya obuwereeza eri Obuganda.
 
Ng’ayogera ku nkyukakyuka zino, Katikkiro Charles Peter Mayiga yategeeza nga kino bwekyakolebwa okukendeeza enkola y’Obwannakyewa nga batandikira ku mutendera gwa baminisita.
 
Mu baminisita abaasigalawo baweebwa ekiragiro ky’okukola emirimu gy’Obwakabaka essaawa munaana buli lunaku buli wiiki nga kino kitegeeza nti bangi ku bbo obuvunanyizibwa bwe balina mu bitongole ebirala nga baalina okubuvaako okusigala ku mirimu gy’Obwakabaka.
 
Baminisita bano okubagulira emmotoka y'emu ku nteekateeka y'okussa mu nkola enkola ey'okumalawo obwannakyewa olwo baminisita bakole nnyo ate nga basasulwa bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...