TOP

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi kyengedde

By Martin Ndijjo

Added 19th September 2019

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Embuutu1 703x422

Abakozi ba Bukedde Fa Ma n'abatadde ssente mu kivvulu ky'Embuutu y'Embuutikizi

EKIVVULU ky’Embuutu y’Embuutikizi eky’omwaka guno kyongeddwaamu ebinnonoggo. Buli ayingira ajja kuvaayo n’ebirabo mu ngalo omuli n’okuwangula ssente.

Herbert Yawe Kabanda akulira Bukedde Fa Ma 100.5 ne 106. 8 e Masaka ne 96.6 e Mbarara agamba nti ng’oggyeko okunyumirwa emiziki gy’abayimbi ab’enjawulo abagenda okusanyusa abantu, buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi etuumiddwa Meketa eya October 27, 2019 mu kisaawe e Wankulukuku ajja kuvaayo n’ebirabo mu ngalo era akunze abantu okubaayo mu bungi ng’okuyingira kwa 10,000/-.

Eggulo ku Lwokuna abateesiteesi n’abakitaddemu ssente okuli; Jimmy Ssempuuma owa MTN, Dickens Akampumuza owa Pepsi Cola, Nanah Nanyonga owa Lucky3 ssaako aba Uganda Breweries abasogola Bell, baakung’aanidde ku kitebe kya Vision Group efulumya ne Bukedde ne bannyonnyola engeri gye bagenda okusanyusaamu abadigize n’ebirabo bye bagenda okugaba.

 FIYINOLO Y’EKIGWO GGUMBYA

Kabanda yategeezezza nga ku lunaku

lwe lumu kwe bagenda okufuna omuwanguzi w’ekigwo ow’omwaka guno

era ku ssaawa 8:00 ez’emisana wajja

kusookawo fayinolo y’ekigwo Ggumbya ng’omuwanguzi wakusitukira mu kyapa ky’ettaka n’ebirabo ebirala.

 ABAYIMBI ABATO BAGUDDE MU BINTU

Ng’oggyeko abayimbi abanene, abayimbi abato nabo bagenda kuweebwa omukisa okuyimba era abanaasinga okusanyusa abantu bafune ebirabo.

Kabanda yategeezezza nga bwe bagenda okuteekawo enteekateeka ey’enjawuulo okusunsulamu abayimbi abato abanaayimba mu Mbuutu (bajja

kuyitibwa ku kitebe kya Vision  Group) era abanaasinga bannaabwe okwolesa ekitone bagenda kubakwatira ennyimba mu situduyo ne ku vidiyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...