TOP

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo omusango

By Martin Ndijjo

Added 20th September 2019

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula, aggyeeyo ebbaluwa gye yawandiikira akakiiko akaluhhamya abasawo ke yali asaba kamukangavvule (Hamzah Sebunya) ng’amulumiriza nti yeefuulira omulwadde we n’amuganza.

Remassebunnya 703x422

Rema ne Ssebunnya

Bya Martin Ndijjo
 
OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula, aggyeeyo ebbaluwa gye yawandiikira akakiiko akaluhhamya abasawo ke yali asaba kamukangavvule (Hamzah Sebunya) ng’amulumiriza nti yeefuulira omulwadde we n’amuganza.
 
Sharif Ssentongo Nambale ng’ayita mu munnamateeka we Erias Nalukoola, yawandiikira akakiiko ka Allied Health Proffesional Council ng’asaba banoonyereze ku Sebunya ng’alumiriza nti bano okwagalana, Rema yali agenze kumujjanjaba ekikontana n’amateeka agafuga abasawo.
 
Kyokka oluvannyuma kyazuulwa nti tewali bukakafu bulaga nti Sebunya yali abaddeko omusawo wa Rema.
 
Munnamateeka Nalukoola eyali mu nsonga zino bwe yatuukiriddwa, yakakasizza
nti ebbaluwa baagiggyeeyo n’annyonnyola nti omuntu we ekintu kye yali anoonya
yakifunye era oluvannyuma baawandiikidde akakiiko ke kamu nga baggyayo ebbaluwa gye baasooka okuwandiika.
 
Wabula wadde Nalukoola yategeezezza bwatyo, naye ensonda zaategeezezza nti Ssentongo bwe yawandiika ebbaluwa eno, abantu bangi baakwatibwako nga bakiraba nga awali olukwe lw’okugootaanya emikolo gya Rema.
 
Bannaddiini nga bakulemberwa Sheikh Nuhu Muzaata, baatuukirira Ssentongo ne
Nalukoola ne boogera nabo ku nsonga y’ebbaluwa gye baawandiika era gye byaggweera nga bakkiriziganyizza.
 
Kigambibwa nti Ssentongo yeetondera Sebunya olw’obutasooka kwetegereza nsonga nga tannawandiika bbaluwa.
 
Kyokka Ssentongo bwe yatuukiriddwa yagambye nti ekimu ku byasinga okumuggyisaayo ebbaluwa eno, kwe kuba nti abantu be yali ayogerako
Basiraamu banne ate Baganda banne noolwekyo yeekuba mu kifuba ebintu n’abikomya awo.
 
Yagambye nti ekirala, abakulembeze b’eddiini nga Sheikh Muzaata bwe baavaayo ne boogerako naye, tayinza kusigala ng’agugubidde ku ky’okuwaabira Sebunya kubanga
bannaddiini bali waggulu we ate bw’otowa bakulembeze kitiibwa naddala ab’eddiini tekiraga mpisa.
 
Wabula yakiggumizza nti okuwandiika ebbaluwa yali talwana lutalo lwa Kenzo na Rema, naye yali ayagala kulwaniririra ddembe lya bantu naddala abakazi abakabassanyizibwa abasawo gye baba bagenze okujjanjabibwa.
 
Sheikh Muzaata ye yagambye nti nga munnaddiini yalina okuyingira mu nsonga zino kubanga obumu ku buvunaanyizibwa bwe, kutereeza nsonga zisobye era buli weetaagisa okutereeza ayingirawo n’atereeza.
 
Yalaze nti aboogerwako abatwala nga baana b’azaala nga bwe bafuna obuzibu tayinza
kutuula butuuzi y’ensonga lwaki yabiyingiddemu.
 
Yagambye nti yandyagadde kumwonoonera linnya n’agamba nti olaba naye omukadde
akuumye erinnya lye naye ate abaana bano abato bakyanoonya obulamu obulungi ku nsi.
 
Ye ssentebe w’enteekateeka z’emikolo, Hajji Issa Musoke yagambye nti bo ebyo baabiraba nga temuli kantu naye kati entegeka z’emikolo zigenda mu maaso naddala kati bw’olaba ng’ebintu nga bino ebibadde bigendereddwaamu okukotoggera
biwedde, kizzaamu amaanyi.
 
Yagambye nti mu kiseera kino Rema amaanyi agasizza nnyo kukuyimbira bawagizi be mu nnaku zino ezisigaddeyo ng’emikolo teginnabaawo era gye buvuddeko abadde mu bivvulu eby’enjawulo mu bitundu eby’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...