TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole kya leerwe

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole kya leerwe

By Musasi wa Bukedde

Added 20th September 2019

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole kino okumanya amayumba gaabwe abamu nga tebamaze kubalabula, ate ng’abamu ku bo be baabaguza.

Namanve 703x422

Rdc Joseph Ssekasamba, Diso wa Kira n’abakungu okuva mu kitongole kya Leerwe nga bali mu lukiiko.

Bya MADINAH NALWANGA
ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole kino okumanya amayumba gaabwe abamu nga tebamaze kubalabula, ate ng’abamu ku bo be baabaguza.
 
Abatuuze bano baayise omubaka wa pulezidenti owa Kira, Joseph Muhoozi Ssekasamba abadduukirire, naye n’ayita abamu ku bakungu okuva mu kitongole ky’eggaali y’omukka bannyonnyole abantu ebigenda mu maaso.
 
Wana Kagezi ssentebe wa zooni ya Kira ku leerwe yagambye nti ensonga enkulu eriwo ye ya Baleerwe abaamenya amayumba g’abatuuze nga tebababuulidde, era n’ategeeza nti obunkenke obuli mu kitundu obuyitiridde bwe buyisizza olukuhhaana kubanga bagenda bamenya entakera.
 
Ayongerako nti Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole kya leerwe
Zooni ya Kireku Leerwe mulimu ebifo ebyobulabe omuli abakyamu era n’asaba aba munisipaali y’e Kira okubateerayo ku mataala basobole okunyweza obutebenkevu kuba n’abaserikale batono ng’ate abantu be bakuuma bangi.
 
RDC Ssekasamba yawadde abatuuze obupapula okuwandiika buli gwe bamanyi atunda ettaka ly’ekitongole kya leerwe ng’aliguza abantu n’abawa endagaano.
 
Basomye Mbaligye eyali omuserikale wa Leerwe kati akola ku CPS, Muwummuza station master, Onyango okuva mu kitongole kya Leerwe ne Muwummuza eyali station master kati omugenzi, Muwummuza, Ssekulima Richard ne Kamoga nga bagamba nti bano be baali mu lukwe lw’okutunda ettaka lya Leerwe.
 
RDC yalagidde Geoffrey Obora yinginiya w’ekitongole kino era eyabakiikiridde banoonyereze ku bantu abo abaasomeddwa mu lukiiko, babakwate babagguleko emisango kubanga si be bavunaanyizibwa mu kutunda ettaka ly’eggaali y’omukka.
Yinginiya Geoffrey Obara abaddewo ku lw’ekitongole kya leerwe yagambye nti, leerwe tetundibwa ttaka lyayo, ab’akikola bonna bali mu bukyamu kubanga lya kitongole si lya muntu kinnoomu.
 
RDC basabye ssentebe akwatagane n’abatuuze bakomye entalo basobole okwerwanako n’okulwanirira abatuuze n’abasaba buli omu asonyiwe munne.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...