TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abattakisi beegugunze olw’okuggala oluguudo lwa Luwum

Abattakisi beegugunze olw’okuggala oluguudo lwa Luwum

By Eria Luyimbazi

Added 20th September 2019

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko ku bakola oluguudo luno okuluggula basobole okulukozesa.

Luwum 703x422

Abattakisi nga basindika ekigoma ekyabadde kiteereddwa mu luguudo lwa Luwum Street ku Lwokusatu okusobozesa mmotoka zaabwe okuyingira mu ppaaka.

Bya Eria Luyimbazi
ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko ku bakola oluguudo luno okuluggula
basobole okulukozesa.
 
Kino kiddiridde aba kkampuni ya Stirling, ekitongole kya KCCA gye kyapatana okuddaabiriza oluguudo lwa Namirembe Road Luwum Street ku Lwokusatu okuluggala wakati wa Mini Price n’ekizimbe kya Mutaasa Kafeero nga tebakkiriza kidduka
kyonna kuyitamu basobole okukola nga tewali kutaataaganyizibwa.
 
Embeera eno yatabudde abattakisi abakozesa oluguudo luno okuyingira n’okufuluma ppaaka ne bava mu mbeera nga bagamba nti okuggala oluguudo luno nga
teri mmotoka eyitawo kigendereddwaamu okubalemesa okukola.
 
Bano beekunze ne bagezaako okuggyawo ebigoma ebyateereddwa mu luguudo basobole okuyisaawo takisi zaabwe wabula poliisi n’ebalemesa ng’egamba nti tebasobola kutaataaganya mulimu gukolebwa.
 
Akulira poliisi ya Mini Price, Fabiano Baryayamba yakkakkanyizza baddereeva
n’abagamba nti balina okugondera embeera eriwo kuba oluguudo lwabadde lukolebwa
ng’abakozi tebaagala kutaataaganyizibwa kidduka kyonna.
 
Ye Robert Kiyaga owa takisi yagambye nti abakola oluguudo tebaabategeezezzaako
nti bagenda kuluggala.
 
Baalabidde awo nga bataddemu ebigoma nga tebakkiriza kidduka kyonna kulukozesa
olwo ne babasindika okukozesa omulyango oguli ku Ben Kiwanuka gye yagambye
nti wagenda kubaayo omugotteko mungi.
 
“Lwaki baggala oluguudo olumanyiddwa nti takisi ze lukozesa okufuluma ppaaka?
 
Kati gye batusindika okuyita waliwo akanyigo kangi batuleke tuyite wano we
tumanyi,” Kiyaga bwe yategeezezza.
 
Wabula poliisi yatudde mu kafubo n’aba takisi ssaako abakola oluguudo ne bakkaanya
okuggula oluguudo kisobozese takisi ezikozesa omulyango gwa Luwum Street okuyingira, embeera n’edda mu nteeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...