TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eremeddwa okutwala fayiro y’omusango gwa Kaweesi mu kkooti

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro y’omusango gwa Kaweesi mu kkooti

By Edward Luyimbazi

Added 20th September 2019

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu kkooti esalewo okujja omusango ku basibe 14 abaasigala mu kkooti e Nakawa.

Kkooti1 703x422

Abali ku musango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi nga bali mu kaguli ka kkooti e Nakawa.

Bya EDWARD LUYIMBAZI
 
POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu kkooti esalewo okujja omusango ku basibe 14 abaasigala mu kkooti e Nakawa.
 
Bino byogeddwa omuwaabi wa gavumenti, Hanifah Kasana omusango guno bwe gubadde guzzeemu okusomwa mu kkooti y’omulamuzi Ponsiano Odwori. Kasana yagambye nti fayiro okuli omusango guno tebannagireeta ng’ekyali ku poliisi bw’atyo n’asaba kkooti egwongereyo.
 
Omulamuzi Odwori awulirizza okusaba kwa Kasana era n’agwongerayo okutuusa nga November 7, 2019 nga bwe bakyalinda fayiro yaagwo okuleetebwa.
 
Wabula Kasana aguli mu mitambo abadde tagumanyi ng’omulamuzi Odwori yagumutegeezezza. Kino kibaddewo oluvannyuma lw’okubeera nga fayiro yakyusiddwa okuva ew’omuwaabi wa gavumenti Christine Apolot n’ezzibwa ewuwe nga mupya gy’ali.
Balooya abali mu musango guno abakulemberwa Anthony Wameli baali baasaba kkooti egugobe oba egusindike mu kkooti etaputa Ssemateeka nga bawakanya engeri gye gwawaabwamu n’okubeera ng’oludda oluwaabi luwezezza emyaka 2 n’okusoba nga bakyanoonya obujulizi obuluma abavunaanibwa.
 
Kkooti ebadde erina okusalawo oba ejja omusango gw’okutemula Kaweesi ku bantu 14 abaasigala ku kkooti ey’e Nakawa. Tekisobose kubanga fayiro yaagwo ebadde ekyali ku poliisi kyokka nga bulijjo bagirinda okuva ku kkooti enkulu e Kololo gye yasindikibwa okuwulira okweyimirirwa kw’abasibe munaana abaali bakyali mu kkomera e Luzira ku musango gw’okutemula Kaweesi.
 
Abantu abakyali mu kkooti e Nakawa kuliko Abubaker Ntende, Osman Mohammed, Ibrahim Kissa, Abdul Majid Ojegere, Hassan Tumusiime, Saudah Ayub,Asuman Mugoya, Hamidu Magambo,Swalley Damulira, Ahmada Shaban Senfuka, Umar Maganda, Sinaani Hibwagi, Ali Mugoya ne Abdurah Kalla.
 
N’omusango gw’okukkiriza okubeera mu kibinja ky’abayeekera ba ADF ogwaggulwa ku bamu ku bantu bano nagwo gwongezeddwaayo okutuusa nga November 7, 2019 oluvannyuma lwa fayiro yaagwo okubeera nga nayo ekyali ku poliisi okusinziira ku Kasana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sinza 220x290

Katemba eyabadde mu kuziika ssemaka...

NNAAMUNGI w’omuntu yeetabye mu kuziika omugenzi Erisa Settuba eyalwanya abakazi mu kiseera bwe yali agenda okugattibwa...

Like 220x290

Minisita azzizza ab’e Gomba ku...

MINISITA w’eggwanga ow’ebyettaka Persis Namuganza azzizza abatuuze ku byalo bibiri e Kitemu ne Nkwale mu bibanja...

Kika 220x290

Lutalo ne Eddy Yawe ebyabwe babikwasizza...

ABAYIMBI okwabadde David Lutalo, Ziza Bafana, Eddy Yawe, Dr.Propa, Joseph Ngoma n’abalala beeyiye mu kkanisa ya...

F49dcef9b8834dcda63c4876eb2afb6e 220x290

Abaazikiddwa ettaka e Bududa baweze...

ETTAKA lizzeemu okubumbulukuka ku lusozi Masaaba mu disitulikiti y’e Bududa ebyalo bitaano ne bikosebwa ng’abantu...

Gofo 220x290

Kkamera gwe zaakwata ng’abba bbooda...

OMUSAJJA kkamera za poliisi e Mukono gwe zaakwata ng’abbye boodabooda mu bitundu by’e Nansana-Ganda akwatiddwa...