TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba n’amuggyirayo ejjambiya

Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba n’amuggyirayo ejjambiya

By Musasi wa Bukedde

Added 21st September 2019

POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okutaayizza omuyizi abadde agenda ku ssomero n’amuwamba n’amutwala ewuwe.

Funayo1 703x422

Nankanja alumiriza Wagaba okumuwamba. Ku ddyo, Wagaba eyakwatiddwa ng’akuba essimu. Mu katono ye Sendagire, taata wa Nankanja.

Eno gye yamwesimattuddeko n’adduka. Kigambibwa nti omusajja yabadde amaze n’okuggyayo ejjambiya wabula omwana n’awona.

Amiri Wagaba (50) ali mu kaduukulu ka poliisi y’e Matugga ku bigambibwa nti alina omuyizi w’essomero lya St. Charles Lwanga Primary School ayitibwa Rionah Nankanja, 7, ng’asoma mu P.2 ku ssomero lino gwe yabadde awambye amusanjage.

Abeerabiddeko bino baategeezezza nti Wagaba yabadde mu mmotoka eyekika kya Townace nnamba UAQ 081Q era wakati mu kulabiriza yakutte Nankanja n’amussa mu mmotoka n’amutwala ewuwe.

NANKANJA ANNYONNYODDE ENGERI GYE YAWAMBIDDWAMU

‘’Nkedde ku makya ne baganda bange nga ng’enda ku ssomero, omusajja n’ajja n’ayimiriza emmotoka mu maaso gaffe, n’ampita okukakkana ng’antadde mu mmotoka.

Bwe tutuuse awaka antadde mu ntebe olumaze n’ang’amba nti ngende ku kitanda, n’ampa ssente ezibadde 1,500/-.

Kyokka bwe ngezezzaako okugaana ne nkaaba wano kwe kugamba nti kandeete ejjambiya, oluggi lubadde ssi lusibe wano kwekufuluma ennyumba nga bwe nkuba enduulu n’okukaaba okutuusa bwe bambuuzizza enkinkaabya ne bantwala ku poliisi”.

Wabula baabadde bakyagenda ku poliisi n’abatuuze kwe kulengera omusajja abadde mu mmotoka n’abalengeza Wagaba, Nankanja kwe kugamba abatuuze nga Wagaba yabadde ayagala okumutta wano kwekumukwata era naye ne bagenda naye ku poliisi e Matugga.

Bambega ba poliisi okuva ku poliisi e Matugga baagenze mu maka ga Wagaba ne bagaaza era Nankanja n’ababuulira buli kimu nga bwe kibadde n’engeri gy’amutoloseeko mu nnyumba era abalaze n’ejjambiya nayo poliisi n’egitwala ku poliisi y’e Matugga nga beeyambisa sitatimenti Nankanja gye yakoze.

Taata wa Nankanja Steven Sendagire yagambye nti naye bino bimutuuseeko bw’abadde mu kibuga gy’abadde akedde wabula nga yeewunya engeri omusajja ono gy’abadde awambyemu omwana we.

Abatuuze basabye amateeka gongere okunyweza abantu abagambibwa okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka.

WAGABA YEEWOZEZAAKO:

Wakati mu kulaajana Wagaba yategeezezza nti eno mpalana ya ku kyalo nga baliraanwa be baagala okutwala ennyumba ye n’ebintu bye kye yagambye nti tajja kukikkiriza.

Yannyonnyodde nti omwana yamusanze ku luguudo ng’ali ne nnyina n’amusaba amutwaleko kyokka bw’atuuse mu kkubo n’avaamu mu mmotoka naye kwe kumugamba bagende awaka era bw’atuuse awaka n’amuwa 1,500/- asobole okulinnya boodabooda addeyo awaka naye eky’okwagala okumutta akyegaanye.

Kyokka obwedda ayogera bino nga Nankanja bw’amutegeeza nti alimba kuba ye (Nankanja) talina mukazi yenna gw’abadde naye wabula okuggyako okumusanga ne banne ababadde bagenda ku ssomero.

Paul Kalungi nga ye ssentebe w’e Kirwanira yagambye nti ssinga si baliraanwa okuwulira omwana akaaba osanga yandibadde amukolako obulabe obw’amaanyi n’asaba poliisi eteekemu amaanyi ate erondoole ensonga zino. Wabula akulira ekitongole ekirwanirira eddembe ly’abaana, Make a Child Smile ekisangibwa e Kawanda, Alex Sembatya yasabye abazadde okuwerekeranga abaana baabwe ku masomero okwewala okubawambibwa ate n’asaba Gavumenti eteekewo emisomo gy’abaana ku ngeri gye basobola okwetaasaamu ssinga bafuna abantu ababeera babawambye.

Poliisi y’e Matugga yagaanye okubaako ky’eyogera ku nsonga eno wabula omusango gw’okugezaako okuwamba omwana gwayingiziddwa ku fayiro nnamba 06/20/09/2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...