TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze engeri butto w’emmwaanyi gy'akola ku maanyi g’ekisajja n’abakyala bannabukalu

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze engeri butto w’emmwaanyi gy'akola ku maanyi g’ekisajja n’abakyala bannabukalu

By Musasi wa Bukedde

Added 21st September 2019

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga pikipiki ze baakazaako ‘mmwaanyi zaabala’.

Siba 703x422

Butto akoleddwa mu mmwaanyi

Enjogera eyo ennaku zino tekyaliwo, wabula tekitegeeza nti emmwaanyi tekyalimu migaso oba bugagga.

Ng’oggyeeko okutunda kibooko oba kase, abamu bazikolamu kaawa. Abazungu tebasobola kubaawo awatali mmwaanyi kubanga erimu ekirungo kya ‘Caffeine’ ekibayamba okutambuza omusaayi ne bayita bulungi mu butiti.

Kyokka wano olw’embeera y’obudde, ‘Caffeine’ atukubisa entunnunsi ebiseera ebimu puleesa ne zirinnya, okukala emimwa n’okuleeta ekyoyooyo nga lw’otozinywedde teweebaka. Bingi bye tusobola okukolamu nga muno mwe muli butto w’emmwaanyi.

Ono omukola okuva ku mmwaanyi ento era kano katale kapya, kubanga tezibaamu ‘Caffeine’. Newankubadde abakulembeze tebakkiriza kunoga mmwaanyi nto naye ensi gy’eraze kubanga waliwo engeri abalimi gye basobola okufunamu ssente.

Oluzinoga tuzikaza mu dulaaya ne tukolamu butto w’emmwaanyi, ffe tusoose okumukola era tewali walala w’ogenda kumusanga.

EMIGASO GYA BUTTO W’EMMWAANYI

1 Aleeta mangu ssente kubanga ogenda kuzinoga mangu ate oleme kutunda kibooko akuseeza.

2 Abantu abalina ebirowoozo acamula obwongo n’okuyamba omusaayi okutambula n’atabeera munyiikaavu kuba olumu buvirako omuntu okwetuga.

3 Ku baana abasoma, abayamba okubeera n’obwongo obwogi ne basobola okutegeera bye basoma.

4 Olw’okubeera n’ekirungo kya ‘Cafestol’, ayamba omusaayi okutambula omubiri ne gutakola butwa bwa ‘Lactic acid’ obuleetera omuntu okukoowa amangu n’ebinywa okwesiba. Bannabyamizannyo omuli abaddusi abakolera kubanga abawa amaanyi.

5 Ku bakyala abatatereeza nnaku zaabwe mu nsonga, nga ku mulundi guno gutereera ate oguddako ne gutatereera asobola okutereeza ennaku zaabwe.

6 Olw’okutambuza obulungi omusaayi, kireetera omuntu okufuna obulungi empewo ennungi n’abeera ng’assa bulungi n’atatawaanyizibwa asima. N’abamulina abayamba.

7 Abakyala abaagala okwerungiya, oddira akajiiko ka sukaali n’ogattamu amatondo 10 aga butto w’emmwaanyi n’okola ‘Coffee Scrub’ azigula olususu.

8 Alimu ekirungo kya ‘Anti oxidants’ ebiyamba okwoza ekibumba naddala abo abanywa omwenge. Era ayoza n’ensigo.

9 Ayamba okutambuza ‘insulin’ mu mubiri ekirungo ekiyamba okutereeza sukaali mu mubiri.

10 Ayamba abantu abalina ebivuuma mu matu, bano baba bafunye obulwadde bwa ‘Vertigo’ obucankalanya puleesa y’amatu.

11 Ate ayamba n’abafuna kammunguluze naddala ggwe alina puleesa eya wansi.

12 Osobola okumukozesa okweyoza mu kyenda ekiyamba okuziyiza kookolo, okwesiba kw’olubuto, emmeeme eya wansi.

13 Ayamba okuteeka akawoowo mu mubisi gw’enjuki, n’ofuna ‘Coffee honey’ ow’ettunzi ku katale k’ensi yonna.

14 Tusobola okumukozesa ng’ekyokunywa ku caayi ate n’okuzzaamu amaanyi naddala abo abakola ennyo ne bakoowa.

15 Asumulula obutoffaali obuleeta amazzi abakyala ne bayambibwa obutabeera bannabukalu.

16 Olw’okutambuza obulungi omusaayi, ayamba abaami abanafu okwezza obuggya ne baddamu embavu nga bafuna amaanyi g’ekisajja.

17 Omusomo gwaffe ogwa Sundowner gukomyeyo tuddemu okuyiga bwe bagattako omutindo. Tugenda kubeera ku Sharing e Nsambya.

Mu musomo gwa The Great Sundowner 4 nga October 31, 2019. Omukenkufu Nyanzi asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...