TOP

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo

By Martin Ndijjo

Added 21st September 2019

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Abr1 703x422

Ahumuza Brian ng'anyonyola

Abategesi b’empaka z’eby’emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs) bongedde ebirungo mu mpaka z'omwaka guno.

Mu bimu ku bipya ebiteereddwaamu mulimu; okwongera ku mitendera egivuganyizibwako giri 14 n’okubako abantu ab’enjawuulo abasiimibwa omuli abbo abakoleredde ensike eno okumala ebbanga okulaba nga ekula, abalina eby’enjawuulo bye bakoze okukyusa ensike y’eby’emisono, abalina ebipya bye bayiiyiza n’abalala

Joram Muzira Job omu ku bateesiteesi yategeezezza nti ku mulundi guno Bannayuganda ndaddala abanyumirwa eby’emisono basuubire ekyenjawulo omuli emisono egiriko n’okulaba empaka ezitegekeddwa ku ddaala ly’ensi yonna. annabyamisono atasha inayobye ne im wagga era ba dizayina abamanya

 Bannabyamisono; Natasha Sinayobye ne Kim Swagga era ba dizayina ab'amanya.

Empaka zino ez’omulundi ogw’omusanvu ezigendereddwamu okutumbula eby’emisono n’okutambula n’omulembe zigenda kubeerawo nga December 13, 2019 ku Serena hotel wansi w’omulamwa ‘The Starz’ era zivuganyizibwako baseereebu ab’amannya okuli abayimbi n’abamanyiddwa mu nsike y’okulya obulamu n’abantu n’abapya mu nsike eno.

Brian Ahumuza owa ASFAs agamba, ng’ogyeko omukolo gw’okukwasa abawanguzi ngule zabwe n’okulaba emisono ‘egy’akabi’ nga boolesa, empaka zino ziwadde omukisa bannabyamisono bakuno okusisinkana n’ab’ebweru na buli omu okubako kyayigira ku munne wamu n’okubawa omukisa okwoleesa bye bakola.

 omu ku misono egyacamula abantu omwaka oguwedde omu ku misono egyacamula abantu omwaka oguwedde.

Bbo abantu abazze bavuganya n’okwetaba ku mpaka zino nabbo tebasigadde kye kimu naddala mu nnyambala, bafuna ba dizayina ababategeera mu by’okwambala n’abamu okubako emisono gye bakoopa.

Okufaananako n’emirundi egiyise ne ku mulundi guno ba dizayina okuva mu  Uganda bagenda kuba bavuganya n’abalala abavudde ebweru era bangi ku bazze beetaba mu mpaka zino kati bafuuse basereebu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...

Abazibizi bayambye KCCA okusigala...

ABAZIBIZI ba KCCA okuli Peter Magambo ne Filbert Obenchan beetisse olunaku oluvanyuma lw'okuteebera ttiimu yaabwe...

Af09802412db404ba5f90092737e343c 220x290

Beeraze eryanyi mu mpaka za ddigi...

Bannayuganda bababuusizza 'ebibanda' mu mpaka za ddigi e Busiika

8501711138333059433538208315854187468423168o 220x290

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye...

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye likodi y'ensi yonna

Writer 220x290

Omusajja yeetugidde ku buko!

OMUSAJJA agenze ku buko mukyala we gw’alinamu abaana mwenda gye yanobera ne yeetugira ku muti.