TOP

Ssentebe bamulondedde ku mmundu

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd September 2019

WAABADDEWO obunkenke mu kuddamu okulonda ssentebe w’ekyalo ky’ e Lugala mu zooni ‘I’ mu munisipaali y’e Lubaga amagye ne poliisi bwe baayiiriddwa mu bungi okwewala embeera eyinza okuvaako akalulu okuddamu okuyiika.

Funayo 703x422

Abaserikale nga bali mu batuuze abazze okulonda.

WAABADDEWO obunkenke mu kuddamu okulonda ssentebe w’ekyalo ky’ e Lugala mu zooni ‘I’ mu munisipaali y’e Lubaga amagye ne poliisi bwe baayiiriddwa mu bungi okwewala embeera eyinza okuvaako akalulu okuddamu okuyiika.

Abaavuganyizza baabadde bana nga kuliko; John Bosco Kibalama, Saddam Baluboine, Enock Kamya ne Gonzaga Kabuye kyokka ng’embiranye ey’amaanyi yabadde wakati wa Gonzaga ne Kibalama abaddeko era nga Gonzaga ye yali amyuka Kibalama.

Gye byaggweeredde nga Gonzaga awangudde n’obululu 532 ate Kibalama n’afuna n’obululu 425.

Wakati mu byokwerinda ebyabadde binywezedwa ku ssaawa 4:00 ez’oku makya eyakulidemu okulonda Ezera Ongalia yasoose n’ayogerako eri abantu n’ababuulira ebirina okugobererwa na buli alina okwetaba mu kulonda by’atekedwa okuba nabyo.

Oluvannyuma enteekateeka z’okulonda zaatandise nga zaasoose na kukebera n’okwekenneenya enkalala z’abalonzi era kino kyatutte essaawa ezisoba mu ttaano ekyavudeko n’abamu ku balonzi okwagala okwekyawa olw’okubakalirira mu musana n’okubakandaaliriza wadde nga baakedde.

Ku ssaawa 9:00 abeesimbyewo baalagiddwa okuyimirira mu maaso abalonzi ne batandiika okubasimba mu mugongo era olw’omuwendo naye olw’obungi bw’abantu ab’akakiiko k’ ebyokulonda baasazeewo okukozesa abamu ku byebyokwerinda okwetaba mu kubala abantu.

Oluvannyuma akakiiko kaalangiridde Kabuye ku buwanguzi era ne bamuwa empapula eziraga nti akkiriziganyizza n’ebivudde mu kulonda ateekeko omukono kye yakoze kyokka munne Kibalama yagaanye okuteekako omukono ku mpapula zino ne yeekandagga n’abawagizi be n’ategeeza nti, agenda mu kkooti.

Kino tekyalobedde b’akaakiiko k’ebyokulonda okulagira Kabuye okugenda mu maaso n’okulangirira olukiiko lwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sab3 220x290

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti...

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti ku misaala gy'abasomesa

Seb2 220x290

Abaana babiri okuva mu famire emu...

Abaana babiri okuva mu famire emu bafiiridde mu kidiba e Lwengo

India1 220x290

Ab’omu Buyindi bakaaye ku bayizi...

EKITONGOLE ky’ebigezo ekya UNEB nga kikyasala entotto okutangira obubbi bw’ebigezo, yo mu Buyindi bambazizza abayizi...

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa