TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaserikale batulugunya batya abantu nga balinga abatalaba kkoligo lya Gen. Kale Kayihura?

Abaserikale batulugunya batya abantu nga balinga abatalaba kkoligo lya Gen. Kale Kayihura?

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd September 2019

AMERIKA olwatadde ekkoligo ku Kayihura, n’atandikirawo okulaajana nti: Baagala kunzita, baagala kunsaanyaawo….. Simanyi oba ka ffaamu k’embuzi kano ke bannanga….!

Kalekayihuraindeepthoughts 703x422

Okulaajana kwa Kayihura kwawulikise ng’okw’omusajja eyali nnantameggwa, wabula nga bamuggunze ku ttaka batandise okumuliisa ebisubi.

Amerika yasinze kwesigama ku kya kutulugunya bantu n’okulinnyirira eddembe ly’obuntu okuteeka ekkoligo ku Gen. Edward Muhwezi Kale Kayihura n’aba famire ye.

Okulinnyirira eddembe ly’obuntu okwakolebwa aba Flying Squad nga Kayihura abukadde mu ntebe y’Omuduumizi wa poliisi bye byamuzaalidde ebitukula Makaayi by’azaala ku nsiko, ne bamulagira obutaddayo kulinnya kigere kye ku ttaka lya Amerika ate ne mukazi we n’abaana nabo tebabalabayo!

Nga Kayihura alaajanira ku ffaamu ye e Kashagama gye yeewogomye, ate abaserikale ba poliisi baatanudde buto okutulugunya nga n’omuvubuka eyabadde ateeberezebwa okwenyigira mu kubba amasannyalaze, baamukubye ng’abakuba eky’oku ttale.

Ekibinja ky’abaserikale ekirala ekyasindikiddwa okukkakkaanya enkaayana za siteegi ya takisi y’e Ntebe, nakyo be kyakutte baakubiddwa obukongovule bwonna ne basigala nga mu nsi beegomba abantu ba kika kimu kyokka - abatambula nga tebawonyera!

Kyogerwa lunye nti ensi ng’enaagwa eddalu, abalina okukwasisa amateeka be basooka okugamenya, oluvannyuma ne bawa ensonga ezitamatiza nti – ate oba ne be twabadde tukwata nabo tebaatutaddemu kitiibwa!

Eddalu lyeyongera okukula ng’abantu abo balemeddwa okulabira ku bituuse ku bannaabwe ne balinda bimale kutuuka ku bbo bennyini balyoke beekube mu kifuba nti “Gunsinze, Gunsinze, Gunsingidde ddala……..”

Okutulugunya okwo okulabibwa mu kkamera, kwegattibwako okw’ebiyumba eby’ekyama (Safe Houses) bye baagaanye ababaka ba Palamenti okulambula; eddalu ne liva mu kukula ne likaddiwa okutuuka okukootakoota nnyini.

Naye nga lwaki abaserikale abalina okukuuma emirembe ate be bayisaako ebiwandiiko ebibateeka ku ggwagi mu kutyoboola eddembe ly’obuntu! Ne bwe beegaana era abaatulugunyizibwa bavaayo bukuukuubira ne balaalika okulumiriza ba Afande abo ku kutyoboola eddembe ly’abantu e Nalufenya ne badda ne mu kati ne beewogoma.

Baganda baffe mututaase muleme kusindika nsi yaffe mu ddalu liri lyennyini ekkankada lye twalaba ku mulembe gwa Iddi Amin ng’eyali omuduumizi wa poliisi Kassim Obura akwata omusibe eyali ayimbuddwa kkooti emisana ttuku n’amutwala ne bamutta nga bakozesa piisito ya Obura yennyini.

Bwe munaaleka ensi n’eraluka etyo, eddalu eryo nammwe mujja kulirozaako nga batandise okubateekako nnatti, ensi ebafundirire nnyaabula!

Obura eyatta omusibe mu 1973 nga n’okuwaga bw’awaga nti, “Ate ababo banankola ki?” yawanikibwa ku kalabba oluvannyuma lw’emyaka 16 nga gavumenti mwe yali akolera effujjo evuddewo.

Yalaajana asonyiyibwe., naye eddalu lye yaleka okuwanika amatanga lyamutwaliramu dda!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...