TOP

Ab’e Buvuma batutte NFA mu kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd September 2019

ABATUUZE abasoba mu 300 okuva mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Buwooya mu disitulikiti y’e Buvuma batutte ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibira ekya National Forestry Authority mu kkooti nga bakivunaana okukozesa eggye lya UPDF okubatulugunya nga babagoba mu bibanja byabwe.

Unity 703x422

Bano nga bayita mu munnamateeka waabwe, Emmanuel Onyango beekubidde enduulu mu kkooti enkulu e Mukono . 

Kkooti yasoose kutuuza njuyi zombi bateese balabe oba batuuka ku kukkaanya. Olutuula luno lwakubiriziddwa omutabaganya wa kkooti enkulu e Mukono, Amaziah Martin Otim. 

Onyango yategeezezza kkooti nti aba NFA nga bali wamu n’aba UPDF baasooka kwokya mayumba g’abatuuze ne boonoona emmere yaabwe n’okubakuba emiggo. 

Twayogeddeko n’abamu ku batuuze ne batunnyonnyola obulumi bwe bayitamu ng’abamu tebakyalina we basula ssaako n’abaana obutaba na kyakulya. 

Mu bakyasinze okutulunyizibwa kuliko; Gertrude Kasanga yagambye nti wiiki bbiri eziyise yakubibwa n’afuna ebisago. 

Ibrahim Mugooda agamba nti akyalojja emiggo egyamukubwa ne gituuka n’okukyusa amagumba g’omugongo gwe. 

Abatuuze bagamba nti bazzenga beekubira enduulu mu bakulembeze ku disitulikiti ne ku poliisi naye bonna tebasobodde kubayamba. 

Bayongeddeko nti bwe bamala okubakuba, okubata basooka kubasasuza ssente ezitakka wansi wa mitwalo 15.

Abatuuze baasabye Pulezidenti Museveni abataase ku mbeera gye bayitamu.  Wabula ye munnamateeeka wa NFA yagambye nti abatuuze baayogera nabo ne babategeeza ng’ekitundu kye balimu bwe kiri eky’ekibira era ne babalagira baveeyo kyokka ate yeewuunyizza okulaba nga baddukidde mu kkooti okubawawaabira. 

Omubaka Nantume yagambye agenda kukola kyonna ekisoboka okulaba nga ataasa abantu b’omu kitundu ky’akiikirira. 

Omulamuzi yayongezzaayo ensonga eno okutuusa nga October 17, 2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...