TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwoleso gwa URA okuddizza ku bakasitoma gujjumbiddwa

Omwoleso gwa URA okuddizza ku bakasitoma gujjumbiddwa

By Samuel Balagadde

Added 26th September 2019

OKUTUUKA leero abantu bakyeyiwa ku kisaawe e Kololo ku mwoleso ogw’ennaku essatu ekitongole ekikuhhaanya omusolo ekya URA gwe kyategese okusiima n’okuddiza abantu abasasula omusolo.

Ura1 703x422

Akol (ku ddyo) nga yeetegereza ebintu ebikolebwa abakyala babajaasi ebyayoleseddwa.

Bya SAMUEL BALAGADDE
 
OKUTUUKA leero abantu bakyeyiwa ku kisaawe e Kololo ku mwoleso ogw’ennaku essatu ekitongole ekikuhhaanya omusolo ekya URA gwe kyategese okusiima n’okuddiza abantu abasasula omusolo.
 
Ebimu ku bisinze okusikiriza abantu okugenda e Kololo kwe kugemebwa ‘Yellow Fever’ ku bwereere n’oyo agoba ku pamiti bw’abeera nga yamalayo emitendera bagimuweerawo.
Omwoleso guno gwatandise ggulo ku Lwokusatu gukomekkerezebwe enkya ku Lwokutaano. Akulira URA, Doris Akol yagambye nti okwawukanako n’enteekateeka ebaddewo nga basinga kutiitiibya kkampuni ennene, omulundi guno essira balitadde ku kkampuni entonotono mwe basiimidde kkampuni eziwera 1,000.
 
Enteekateeka endala eziri mu mwoleso guno kuliko; okusomesa abantu ku ngeri ennyangu ey’okutandikamu bizinensi, okunoonyeza ebyamaguzi akatale, okunnyonnyola abantu ebikwata ku musolo gwe basasula n’okwanukulwa ebibuuzo eby’enjawulo ebikwata ku mpeereza za URA.
 bamu ku bantu abaabadde mu mwoleso gwa Abamu ku bantu abaabadde mu mwoleso gwa URA.

 

 
Omukolo gwagguddwaawo minisita w'ebyobusuubuzi n’amakolero, Amelia Kyambadde n’asaba URA okwongera okutunula mu nsonga za bannamakolero n'abasuubuzi naddala ababa batandika bizinensi okusobola okubawa enkizo mu ngereka y'omusolo.
 
Yasabye abakozi ba URA okukendeeza ku bukambwe bwe beeyambisa olumu nga basolooza omusolo kubanga olumu busukka ne buvaako n'okuggalawo bizinensi.
 
Akol yategeezezza minisita nti enteekateeka y’okusiima abawa omusolo bagibunyisizza ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo okusobola okumanyisa abantu nti buli nnusu gye batoola erina ky’egatta ku ggwanika ly’eggwanga.
 
Vincent Seruma omwogezi wa URA yagambye nti waliwo kkampuni ezibadduukiridde ne zibawa ebintu eby'enjawulo bye bagabira abantu mu mutima ogw’okubaddiza.
 
Bye bagaba kuliko ehhano, Face Technologies ekola ku bya ppamiti, National Drug Authority ebawadde eddagala, aba sooda n'obuwunga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

U 220x290

Abazannyi ba Arsenal baboola Aubumeyang...

Agava mu Arsenal galaga nti abazannyi abamu si basanyufu na kyakoleddwa mutendesi Unai Emery okulonda Aubameyang...

14807561277401561480756273noticianormalrecorte1 220x290

Capello ajereze Ronaldo: 'Mu myaka...

Eyaliko omutendesi wa Juventus Real Madrid ne Bungereza, Fabio Capello alumbye Cristiano okuba omwavu w’empisa....

Papa 220x290

Ronaldo ne Sarri batabuse

Wazzeewo obutakwatagana wakati wa Cristiano Ronaldo n’omutendesi wa Juventus, Maurizio Sarri.

Lumba 220x290

Mourinho akoonye Guardiola

Akakuku ka Jose Mourinho ne Pep Guardiola tekasuubirwa kuggwaawo.

Duka1 220x290

Eyabbye omwana bamusanze ne bba...

OMUKAZI eyabbye bbebi wa munne ow’emyezi esatu n’amutwalira omulenzi gwe yalimba olubuto, Poliisi yamulinnye akagere...