TOP

Ab’e Hoima basalawo leero

By Musasi wa Bukedde

Added 26th September 2019

ABEESIMBYEWO okujjuza ekifo ky’omubaka omukyala owa Hoima baasuze beebuga n’okukakasa nti buli kifo awalonderwa waliwo abantu abamala abagenda okukuuma akalulu ku buli ludda.

Hoima1 703x422

BYA GEORGE NIYONZIMA
 
ABEESIMBYEWO okujjuza ekifo ky’omubaka omukyala owa Hoima baasuze beebuga n’okukakasa nti buli kifo awalonderwa waliwo abantu abamala abagenda okukuuma akalulu ku buli ludda.
 
Asinasi Nyakato owa Forum For Democratic Change (FDC) ne munne Harriet Businge Mugenyi owa NRM gwavuganya naye mu kalulu kano buli omu yeebugira buwanguzi.
Akulira ebyokulonda e Hoima, Douglas Matsiko yategeezezza nti, Disitulikiti erina ebifo ebironderwamu 266 mu miruka 78.
 
Yagambye nti, abalonzi bali 14,826 abasuubirwa okusuula akalulu olwaleero n’agamba nti, ebikozesebwa byonna mu kulonda baabitegese dda n’abagenda okulondesa baasuze bulindaala.
 
Bo abawagizi b’enjuyi zombi, baasuze mu mbuutu nga balindirira Katonda kubuggyako ddiba beeyiwe mu bifo ebironderwamu.
 
Ebyokwerinda mu Hoima, biri gguluggulu nga buli w’okuba eriiso olengera poliisi n’amagye agakutte emmundu n’emiggo okutangira abakozi b’effujjo okutabangula emirembe.
 
Omwogezi wa poliisi mu bugwanjuba, Julius Allan Hakiza yategeezezza nti, ebyokwerinda baabinywezezza kubanga basuubira abantu abayinza okwagala okutabangula emirembe mu kulonda nti kyokka, tebaabinywezezza kulemesa bantu kulonda.
 
Yagasseeko nti, nga poliisi tebayinza kukkiriza muntu yenna kukola ffujjo mu kalulu era bali bulindaala okwahhanga omuntu yenna anaayagala okucankalanya embeera.
 
EBIKWATA KU BEESIMBYEWO
Akalulu kalimu abantu babiri Asinasi Nyakato owa FDC ne Harriet Businge Mugenyi owa NRM.
 
Abakazi bombi bazito era si bapya mu byobufuzi by’e Hoima.
 
Nyakato, y’abadde omuwandiisi ku kakiiko k’ebyobulamu ku kitebe kya FDC e Hoima.
Guno mulundi gwakubiri ng’avuganya ku kifo kino ku kaadi ya FDC.
Yasooka kwesimbawo mu 2011.
 
Yasomera ku Mandela Secondary School e Hoima gye yamalira siniya n’agenda e Makerere gye yatikkirwa ddiguli ya ‘Social Works Administration’. Alina diguli endala bbiri mu bintu eby’enjawulo ne Masters.
 
Businge naye si mutene, abadde Minisita w’ebyenjigiriza n’eby’emizannyo mu Bukama bwa Bunyoro. Gye buvuddeko, Pulezidenti Museveni yali amulonze ku kifo ky’omubaka wa Pulezidenti e Ssembabule n’akigaana ng’agamba nti ye agenda mu bya bufuzi.
 
Ye nnannyini ssomero lya Good Samaritan Primary School ku kyalo Kiryateete mu Municipaali y’e Hoima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det1 220x290

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa...

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

Nom1 220x290

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya...

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka