TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Omusuubuzi w’ewa Kisekka yabadde ku mazaalibwa oba mbaga?

Omusuubuzi w’ewa Kisekka yabadde ku mazaalibwa oba mbaga?

By Martin Ndijjo

Added 26th September 2019

Akabaga k’amazaalibwa ga Steven Ssebadduka omusuubuzi wa sipeeya ewa Kisekka kabadde nga mbaga

Sseb1 703x422

Ssebadduka, mukyala we n'omwana nga basala keeki. ku kkono ye Ssenga Ssebanga eyabadde omu ku ba MC

ABAGENYI abaayitiddwa ku kabaga k’amazaalibwa g’omusuubuzi w’ewa Kisekka baatabuddwa olw’ebyakabaddeko abamu ne batuuka okugiyita embaga.

Steven Ssebadduka owa Liberty Auto Spare Parts agamba nti yabadde ajaguza okuweza emyaka 30 egy’obukulu so nga mutabani we Sheiton Ssebadduka (mu katono) naye ajaguza mwaka gumu.

 sebadduka nomukyala nga beerisa keeki Ssebadduka n'omukyala nga beerisa keeki.

Abantu baabaddeyo mu bungi era ne bakalabaalaba b’omukolo (MC) baabadde babiri.

Ng’oggyeeko entimba y’ekifo n’abayimbi ab’enjawulo abaapangisiddwa okusanyusa abantu, bwe baatuuse ku ssaawa y’okusala keeki, Ssebadduka atunda sipeeya ewa Kisekka n’omukyala beeriisizza

 abamu beetabye ku kabaga nga bafuna ekyokulya abamu beetabye ku kabaga nga bafuna eky'okulya.

era abagenyi baabwe abazze oluvannyuma, abamu baawuliddwa nga beewuunaganya nti “Yii.. Ssebadduka takiggalira wano nga tetumanyi…” anti n’ennyambala yabadde mu ssuuti ng’omukyala oyinza okulowooza ali mu lugoye omugole lw’akyusizaamu ate nga n’abazadde ku njuyi zombi baabaddewo.”

Nga basituse ku ssaawa y’okuwaayo ebirabo, abasuubuzi ba sipeeya ewa Kisekka nabo baakyongeddemu ebbugumu bwe baamansizza ssente era bakira bazikasukira Ssebadduka ne mukyala we Aminah Nabagesera nga bwe bazibaka.

 sebaduka nga babafuuwa ssente Ssebaduka nga babafuuwa ssente.

Ssebadduka agamba okutambuza akabaga mu mbeera eno yabadde ayagala mukolo gwe kuba gwa njawulo ku bubaga bw’amazaalibwa obulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip3 220x290

Ogw'okutta Mozey Radio gw'akusalibwa...

Ogw'okutta Mozey Radio gw'akusalibwa nga 28 omwezi guno

Kip2 220x290

Poliisi ekutte omukyala abadde...

Poliisi ekutte omukyala abadde atunda omwana we afune entambula emuzza ewaabwe!

Riot24 220x290

Okwekalakaasa e Makerere, akulira...

Ttiyagaasi anyoose e Makerere, akulira abayizi akwatiddwa, abayizi bazirise.

Sab3 220x290

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti...

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti ku misaala gy'abasomesa

Seb2 220x290

Abaana babiri okuva mu famire emu...

Abaana babiri okuva mu famire emu bafiiridde mu kidiba e Lwengo