TOP

Abayimbi beesunga Mbuutu y'Embuutikizi

By Martin Ndijjo

Added 26th September 2019

Abayimbi bawera kukuba baddigize mikizi mu Mbuutu y'Embuutikizi Meketa

Embuu1 703x422

abamu ku bayimbi abagenda okuyimba mu Mbuutu y'Embuutikizi

“Ffe tubalinze mu Mbuutu y’Embuutikizi  tubakube omuziki nga bwe mugumeketa.” bwebatyo abayimbi omu kw’omu obwedda bwe bawaga n’okukowoola abawagizi babwe okweyiwa mu kivvulu kya Bukedde FaMa  Embuutu y’Embuutikizi ‘mekita’ ekigenda okubeerawo nga October 27, 2018 mu kisaawe e Wankulukuku

Abayimbi nga bakulembeddwamu Jose Chameleone leero basinzidde mu lukung’aana lwa bannamawulire olutudde ku kitebe kya Vision Group efulumya ne Bukedde ne bategezza nga bbo bwe bamaze okwetegeka n’okuwawula amaloboozi kati balinze lunaku lwa Mbuutu basanyukire wamu n’abawagizi babwe n’abawuliriza ba Bukedde Fa Ma ng’ejjaguza okuweza emyaka 11 ng’ebuutikidde leediyo enddala mu ggwanga

Mu bayimbi abalala abagenda okubeerayo kuliko David Lutalo, Gravity Omutujju, Spice Diana, B2C, Mathias Walukagga, Stabua Natooro, Fik Fameica, Carol Nantongo,  Fefe Bussi, Chozen Becky, Viola Nakitende, Dax Kartel, Spider Loxy, Pretty Namutebi, Fresh Kid ate nga ne Fresh Jjajja naye talutumidde mwana n’abalala

Herbert Yawe Kabanda akulira Bukedde Fa Ma 100.5 ne 106. 8 e Masaka ne 96.6 e Mbarara ng’ayogera ku binnonnoggo ebisiddwa mu kivvulu kino agambye, buli ayingira ajja kuvaayo n’ebirabo mu ngalo omuli ne ssente enkalu.

Ate Phiona Tamale avunannyizibwa ku bivvulu ebitegekebwa Vision Group agasseko nga eby’okwerinda bwe bigenda okuba eby’amaanyi okutangira abamenyi b’amateeka ate ekyuma ekipangisiddwa okukuba emiziki kipya era kyamulembe.

Kkampuni  ezitaddemu ssente okuliko; MTN, Pepsi Cola, Lucky3 ssaako aba Uganda Breweries abasogola Bell,

Fayinolo y’ekigwo

Mu kivvulu kino era mutegekeddwamu ne fayinolo y’ekigwo ggumbya.

Abamegganyi  abaayiseemu okuva mu bitundu eby’enjawulo ku lunaku luno we bagenda okwegera eryanyi okufunako nnatamegwa w'omwaka guno agenda okusituukira mu kyapa ky’ettaka ekiwereddwayo aba Luba Properties bamugattireko ebirabo ebiarala omuli n’okuva mu ba Prestige Margarine.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza