TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita alayidde okufaafaagana n’abaatemyeko omukazi omutwe

Minisita alayidde okufaafaagana n’abaatemyeko omukazi omutwe

By John Bosco Mulyowa

Added 27th September 2019

KAABADDE kaseera ka nnaku mu kuziika omukyala Dimitria Nante Nabasumba 60, agambibwa okutemebwatemebwa omuvubuka Francis Namutale 27, ebiso emisana ttuku n’amutta.

Kasolo2 703x422

Minisita Kasolo n’abamu ku bamulekwa omugenzi Nabasumba (mu katono) b’abadde alabirira.

Bya JOHNBOSCO MULYOWA
 
KAABADDE kaseera ka nnaku mu kuziika omukyala Dimitria Nante Nabasumba 60, agambibwa okutemebwatemebwa omuvubuka Francis Namutale 27, ebiso emisana ttuku n’amutta.
 
Kigambibwa nti Namutale ne banne baasoose kutuuza lukiiko mwe baasaliddewo okutta Nabasumba beddize ebyobugagga bye ne bba omugenzi Paulo Jjuuko naye eyafa emyezi ebiri egiyise.
 
Bino byabadde ku kyalo Kyanika B mu ggombolola y’e Kabira mu disitulikiti y’e Kyotera
wakati mu bakungubazi okusaba Gavumenti eyambe okukwata abatemu n’okuzzaawo ekibonerezo ky’akalabba eri abasingibwa ogw’obutemu.
 
Nabasumba yaziikiddwa ku kyalo Njeru mu muluka gwe Nakatoogo mu ggombolola y’e Nabigasa ng’okusabira omwoyo gwe kwakulembeddwaamu omusomesa Joseph Mugalula ow’ekisomesa ky’e Makonzi eyennyamidde olw’engeri ey’obukambwe Nabasumba gye yatemuddwaamu n’asaba abeebyokwerinda naddala poliisi okunoonya abatemu bonna
bakwatibwe.
 
Okuziika Nabasumba kwetabiddwaako ne minisita wa Micro Finance, Haruna Kyeyune Kasolo eyategeezezza ng’ettemu lino bwe lyamukubye ewala n’awera nti agenda kuyambako famire okulaba nga bonna abaabadde mu lukiiko okuteesa ku ttemu lino bakwatibwa. DPC wa Kyotera, Rosette Sakahwa yategeezezza nti baakakwata abantu basatu ku ttemu lino era bagguddwaako gwa butemu ng’abalala bakyanoonyezebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano