TOP

‘Tukyalina omulimu gw’okulwanyisa entalo’

By Hannington Nkalubo

Added 28th September 2019

KKWINI wa Bungereza aweerezza obubaka obwenjawulo obusiimye amawanga omuvudde ababaka ba palamenti abeetabye mu lukuhhaana olugenda mu maaso e Munyonyo nti lwa mugaso nnyo era lugenda kuvaamu ebibala ebitagenda kwerabirwa.

Sevo 703x422

Sipiika Kadaga (ku kkono) ng’ayaniriza Pulezidenti Museveni.

Obubaka bwasomeddwa Pulezidenti Museveni ku lwa Ssaabawandiisi w’omukago guno oguyitibwa Common Wealth Parliamentary Association.

Kkwini ye muyima w’omukago guno era obubaka bwe bubadde buteekwa kusomebwa Ssaabawandiisi w’omukago guno ataabaddewo, Pulezidenti Museveni kwe kubusoma.

Museveni bwe yabumaze n’alaga ebirungi ebituukiddwaako mu mukago guno n’agattako nti asuubira nti ssinga gweyongera mu maaso amawanga naddala agakyakula gagenda kweyongera okusitula embeera z’abantu baago.

Yategeezezza nti ebimu ku byenjawulo ebiri mu mukago guno y’enkolagana ennungi wakati w’amawanga agawera 54. “ Luno lwe lukuhhaana lw’amawanga amangi lwe nneetabyemu nga temuli atadde buntu ku matu kumutaputira.

Ffenna twogera olulimi lwe lumu era tuwuliziganya bulungi. Tusobola okukolagana mu byokwerinda, obusuubuzi, mu byobuwangwa n’obukulembeze obwa demokulase. ” Museveni bwe yagambye.

Yategeezezza nti bateekwa okussa ekitiibwa mu nkola y’eggwanga eryetongodde nga lirina bye likola ne beewala okuliyingirira kasita liba nga ligenderera kuyamba bannansi baalyo.

Yategeezezza nti bw’otunuulira omukago guno gugatta abantu abawera obuwumbi bubiri n’ekitundu era amawanga agagulimu galina bingi bye gafaanaganya naddala olulimi ne demokulase.

Yalambuludde nti okusinziira ku muwendo gw’abantu mu mawanga gano, ssinga enkolagana yeeyongera egenda kuvaako enkulaakulana n’okusuubulagana okulungi okutaliimu nnyo misolo mingi.

Yalaze nti amawanga gateekwa okwerabira ebyaliwo nga okutwala abantu mu buddu ne batandika essuula empya naddala ey’okuyiiya mu magezi ag’ekikugu n’okuzimba amakolero.

Yagambye nti amawanga gokka agali mu mukago guno tegateekeddwa kukolagana gokka wabula bakolagane n’amawanga amalala naddala agasuumuse mu ssaayansi n’okuvumbula.

Wakati mu kumukubira engalo yategeezezza nti mu nkolagana ennungi basobola okukuuma obutonde bw’ensi n’okukomya okweyagaliza n’omululu oguli mu bakulembeze abatali bamu.

Mu kusooka sipiika wa palamenti ya Cameroon, Emullia Monjowa Lifaka yatenderezza entegeka ennungi eyakoleddwa mu Uganda n’asiima obukulembeze bwa Pulezidenti Museveni ssaako sipiika wa palamenti, Rebecca Kadaga okubategekera.

Yeewunyizza engeri abakyala gye baweereddwa ebifo ebisava mu Gavumenti n’ategeeza nti kibeere kyakulabirako eri amawanga amalala nti awatali bakyala kussibwa ku mwanjo tewali nkulaakulana yannamaddala.

Kadaga yategeezezza nti wadde bingi bituukiddwaako naye ate omukago gukyalina okusoomoozebwa mu bintu ebyenjawulo omuli okwongera enkulaakulana mu bannansi, okulwanyisa endwadde eziva ku kwegatta, entalo mu mawanga ezivuddeko abanoonyi b’obubudamu okweyongera, enkyukakyuuka mu butonde bw’ensi, okuyamba abantu abaliko obulemu, okuyingiza abavubuka mu bukulembeze n’okutumbula ebya ssaayansi n’okuvumbula ebipya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsonga 220x290

FUFA etongozza kampeyini ya AFCON...

FUFA etongozza kkampeyini ya Uganda okugenda mu Africa Cup of Nations e Cameroon omwaka ogujja ne bateekawo engombo...

Fufaafconprepsoct23bukedde6 220x290

Cranes yaakutambulira mu Bombardier...

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso...

Capture 220x290

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...