TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Mbega wa CIA eyakesse Trump ayongedde bwiino

Mbega wa CIA eyakesse Trump ayongedde bwiino

By Musasi wa Bukedde

Added 28th September 2019

MBEGA w’ekitongole kya Amerika ekikettera munda ekya CIA eyakesse Pulezidenti Donald Trump ng’apanga okusiiga gw’avuganya naye Joe Biden enziro ayongedde bwiino.

Posterwhitehousetranscripts2 703x422

Mbega ono omukambwe afulumizza ekiwandiiko kya miko musanvu ng’alumiriza Trump n’abakozi mu maka g’Obwapulezidenti aga White House okumanya emisango gino ne basalawo okugibikkirira.

Okusinziira ku lupapula lwa New York Times, mbega ono yasindikibwa ekitongole kya CIA okulondoola ebigenda mu maaso mu maka g’Obwapulezidenti era omulimu guno abadde agukola.

Mu kiwandiiko kino, mbega alumiriza nti abakozi ba White House bwe baamala okuwulira emboozi ya Trump ne Pulezidenti wa Ukraine ng’amufalaasira okunoonyereza ku Joe Biden ne mutabani we, Hunter, baasalawo okugisangula mu bifo by’olukale omuterekebwa bwiino ne fayiro eza Pulezidenti n’abagenyi be ne babikweka mu kifo ekirala (server) era ne bakyusa n’amapeesa (codes) agaziggulawo ne beesirikira.

Nti yamaze kubanyigiriza nnyo n’okutandika okwasa ebyama olwo ne bagikkiriza okuziggyayo.

Mbega era yayongeddeko nti azudde nga Trump ne banne bakola ebintu ebimenya Semateeka wa Amerika bingi abakozi abandibyanise ate ne babibikkirira.

Ekiwandiik kya mbega ono bwe kyafulumye, Trump eyabadde mu kibuga New York yataamye n’alangirira nti kati bali mu lutalo.

Yasinzidde mu wooteeri ggaggadde eyitibwa Intercontinental Hotel e New York n’awera okufiira ku mbega eno n’abo baasuubiriza nti akola nabo.

Kyokka aba Democrats baamwambalidde nti akomye okutiisatiisa abantu alindiridde kiddako.

Ebyazuuliddwa mbega eno byebavuddeko sipiika wa palamenti ya Amerika esookerwako Nancy Perosi okulangirira mu butongole nti batandise ku lugendo lw’okugoba Trump ku bwapulezidenti ng’ekisanja kye ekisooka tekinnaggwaako.

Trump, ebintu byatandise okumwonoonekera mu August omwaka guno bwe kyazuuse nti yakubira Pulezidenti wa Ukraine, Volodymyr Zelensky n’amupepereza okusiiga enziro Munnabyabufuzi Joe Biden eyaliko omumyuka wa Pulezidenti mu biseera bya Barrack Obama.

Biden y’omu ku beesowoddeyo okumwesimba ku Trump mu kalulu aka 2020.

Ng’ebula omwaka mulamba okutuuka ku kalulu mu November 2020, Biden aleebya Trump mu kunoonyereza okukoleddwa mu balonzi singa akalulu kakubwa leero, era Trump abadde yaggula ku Biden olutalo lw’ebigambo n’ekigendererwa ky’okumunafuya mu balonzi.

Essimu eyazaalidde Trump ebizibu mbega n’agiketta yagiwugulumiza Pulezidenti Zelensky nga July 25, 2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.