TOP

Omusumba Jjumba ayogedde ku kinaamalawo ettemu

By Ssennabulya Baagalayina

Added 30th September 2019

"Bannansi okufuna obuweerero ne tuggwaamu okutya ng'abatutadde ku bunkenke beenenyezza ne bafuna omutima ogulumirirwa obulamu bw'abalala," Omusumba Jjumba bwe yakkaatirizza.

OMUSUMBA w’e Masaka, Rt. Rev. Serverus Jjumba agambye nti ekinaamalawo ettemu mu ggwanga be bannannyini kulyetabamu okwekuba mu kifuba ne bakyayira ddala omuze guno.

"Bannansi okufuna obuweerero ne tuggwaamu okutya ng'abatutadde ku bunkenke beenenyezza ne bafuna omutima ogulumirirwa obulamu bw'abalala," Omusumba Jjumba bwe yakkaatirizza. 

Yagasseeko nti ettemu erisaanikidde eggwanga lituusizza n'abantu okweraliikirira munnaabwe agenze obugenzi ku dduuka okugulayo Airtime nti oba olyawo taakomewo.

 bakristu nga bayaayaanira okufuna omukisa okuva ewomusumba jumba eyakuliddemu okulamaga ku kiggwa kymujulizi runo serunkuuma ku saza mu kibuga asaka Abakristu nga bayaayaanira okufuna omukisa okuva ew'omusumba Jjumba eyakuliddemu okulamaga ku kiggwa ky'Omujulizi Bruno Sserunkuuma ku Ssaza mu kibuga Masaka.

Omusumba Jjumba yabyogeredde mu Mmisa gye yasomedde ku kiggwa ky'omujulizi Bruno Sserunkuuma ku  Ssaza e Masaka.

Abakristu abakkiririza mu mujulizi Bruno okubakolera ebyamagero, balamagayo okwebaza essaala zaabwe ezaanukuddwa n'okusaba ebintu ebirala.

 mubaka wekibuga asaka mu aalamenti athias puuga samba nabamu ku baalamaze ku kiggwa kyomujulizi runo serunkuuma Omubaka w'ekibuga Masaka mu Paalamenti Mathias Mpuuga Nsamba n'abamu ku baalamaze ku kiggwa ky'omujulizi Bruno Sserunkuuma.

 

Okulamaga kw'omwaka guno kwajjumbiddwa nnyo nga kwetabiddwaamu n'omusumba eyawummula, Rt. Rev. John Baptist Kaggwa n'omubaka wa Masaka mu Palament,i Mathias Mpuuga Nsamba.

 

 mubaka wekibuga asaka mu aalamenti athias puuga samba nabamu ku baalamaze ku kiggwa kyomujulizi runo serunkuuma


Omubaka w'ekibuga Masaka mu Paalamenti Mathias Mpuuga Nsamba n'abamu ku baalamaze ku kiggwa ky'omujulizi Bruno Sserunkuuma.

Omusumba Jjumba yajulizza Bruno nti wadde yali awoomerwa nnyo omwenge, okulwana n'okwesanyusa n'abakazi naye olwategeera Katonda byonna yabirekayo era Ddipo n'aziggala.


N'agamba nti abatemu n'abatulugunya abalala bonna bateekwa kusalawo nga Bruno ne bakyawa ekibi olwo Ensi n'ebukalamu emirembe nti naye awatali ekyo, amaziga gakyakaabwa nnyo.

Yabuuliridde n'abeegaggawaza bokka nga bayise mu kunyigiriza abawejjere nti beegaziyirizza ekkubo erinaabatuusa mu muliro ogutazikira nga bwe gwali ku mugagga Sseggaali ne Lazaaro aboogerwako mu Vvanjiri.

Ku butabanguko mu maka, yawadde abafumbo amagezi okwekomako kw'ebyo ebibaviirako ennyombo ezitatadde n'ababuulira okukola ennyo beegobeko obwavu.

Bp. Jjumba yalangiridde nti baatandikidde wa Bruno enteekateeka z'okulamaga ku kiggwa ky'abajulizi e Namugongo okwa June 3 omwaka ogujja n'abakunga bamuwe ssente ezinaayimirizaawo omukolo guno.

Bwannamukulu w'ekigo kino, Fr. James Ssendege yasabye Abakristu boongere okubawaayo ssente  zibayambe okumaliriza eddimu ly'okuzza obuggya ekifo kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...