TOP

SK Mbuga bamukoledde akabaga okumukulisa ekkomera.

By Martin Ndijjo

Added 30th September 2019

ABATUUZE b’omu Ssankala zooni e Makindye ekitundu omugagga SK Mbuga mw’azimba eddwaaliro bamukoledde akabaga okumukulisa ekkomera.

Mbu1 703x422

Mbuga ngatuuka ku kabaga

Ku Ssande abatuuze b'omu Ssankala baasuze mu ngatto nga balya n’okunywa nga bwe basala endongo mu kye baayise okujaguza obuwanguzi bwa ssereebu era omugagga waabwe SK Mbuga bwe yatuuseeko ne bamuwa n’ekirabo ky’embuzi.

Nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe, Kasim Ssekimpi baalojjedde Mbuga embeera ey’obugubi gye babadde bayitamu waatabadde n’enkulaakulana gye yaleka atandiseeko okuba nti yayimirira ate nga baalina essuubi kaazimbye eddwaaliro mu kitundu kyabwe ekizibu ky’obujjanjabi kigenda kufuuka lufumo.

“Buli lunaku Hajji tubadde tukusabira era tuli basanyufu nti, Allah akikoze osobodde okuvvuunuka ebizibu ebibadde bikuzimbyeko akayumba ate okomyewo oli mulamu,” Ssekimpi bwe yagasseeko.

Mbuga mu kwogerako gye bali yasoose kubeebaza olw’omukwano gwe bamulaze n’okujjukira ebirungi bye yaleka abakoledde n’abasuubiza nti, agenda kutandikira we yakoma.

 buga nga bamukwasa embuzi Mbuga nga bamukwasa embuzi.

Yabakuutidde okukuuma emirembe n’okusanyukira mu mirembe era n’abasaba bakolere wamu naye mu kaweefube gw’aliko okulaba ng’aleeta enkulaakulana mu kitundu kyabwe.

SK Mbuga ng’amannya ge ye Sulaiman Kabangala Mbuga amaze ebbanga lya mwaka gumu n’emyezi mwenda ng’attunka mu musango gy’obufere egyamuggulwako okutuusa ku Lwokutaano kkooti e Sweden bwe yamwejjeerezza era yakomyewo mu ggwanga ku Lwomukaaga ku makya.

Bwe yabadde yaakatuuka yategeezezza nga bw’agenda okutandikira we yakoma omuli okumaliriza eddwaaliro lye ery’omulembe lye yatuuma Nu Shifah Hospital.

Nga tebannaba kumusiba yategeeza nga bwe ligenda okumalawo obukadde bwa ddoola busatu n’ekitundu (mu za Uganda nga zikunukkiriza obuwumbi 12) nga liwedde nti era n’ebimu ku byuma eby’omulembe eby’okulibeeramu, yali yabigula dda.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Poliisi ekutte omukyala abadde...

Poliisi ekutte omukyala abadde atunda omwana we afune entambula emuzza ewaabwe!

Riot24 220x290

Okwekalakaasa e Makerere, akulira...

Ttiyagaasi anyoose e Makerere, akulira abayizi akwatiddwa, abayizi bazirise.

Sab3 220x290

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti...

Omubaka Ssewungu awabudde Gavumenti ku misaala gy'abasomesa

Seb2 220x290

Abaana babiri okuva mu famire emu...

Abaana babiri okuva mu famire emu bafiiridde mu kidiba e Lwengo

India1 220x290

Ab’omu Buyindi bakaaye ku bayizi...

EKITONGOLE ky’ebigezo ekya UNEB nga kikyasala entotto okutangira obubbi bw’ebigezo, yo mu Buyindi bambazizza abayizi...