TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baweze obukoofiira bwa People Power ne baleeta Pulaani B

Baweze obukoofiira bwa People Power ne baleeta Pulaani B

By Kizito Musoke

Added 30th September 2019

EKIRAGIRO kya UPDF okuwera abantu ba bulijjo okwambala ebyambalo by’amagye n’obukoofiira obwefanaanyiriza enkoofiira z’abajaasi kisaanudde aba People Power ne bafulumya gye bayise “pulaani B”.

Baret111 703x422

Aba People Power mu nkoofiira zaabwe.

Bya KIZITO MUSOKE, HANNINGTON NKALUBO ne MARGARET ZALWANGO

 

EKIRAGIRO kya UPDF okuwera abantu ba bulijjo okwambala ebyambalo by’amagye n’obukoofiira obwefanaanyiriza enkoofiira z’abajaasi kisaanudde aba People Power ne bafulumya gye bayise “pulaani B”.

 

Mu nteekateeka eno baddidde akabonero ka ‘People Power’ ne bakaggya ku bukoofiira obufaanana obw’amagye ne bakazza ku nkoofiira endala emyufu ezenjawulo.

 

Enkoofiira kwe batadde akabonero ka ‘People Power’ kuliko obukoofiira obuliko ekisasi obwakazibwako topi; enkofiira emyufu eziringa entalabuusi, enkofiira y’ekikungu eyitibwa ey’omujunga ne sseppeewo.

 



Eggulo, abatunda enkofiira naddala mu Kampala baalabiddwa nga bazitunda nga bwe basaakaanya “gula People Power omupya”.

 

Bino biddiridde amagye okuwera abantu baabulijjo okwambala oba okukozesa ebintu ebifaanana eby’amagye.

 

Ebintu bino kuliko enkoofiira eziri mulangi z’amagye okuli emyufu (ezifaanana eza People Power), enzirugavu, kiragala ne langi endala.

 

Kyokka omwogezi w’amagye, Brig. Richard Karemire yategeezezza nti okussa mu nkola ekiragiro kino y’entikko y’enteekateeka ezaatandikibwa mu 1996 okulaba

ng’abantu baabulijjo tebakozesa byefaananyiriza byambalo by’amagye okuli; yunifoomu, enkofiira n’enyota oba ebitiibwa bya bofiisa ba UPDF.

 

Enteekateeka zino zaayisiddwa olukiiko lw’amagye olw’oku ntikko olwatudde mu State House e Ntebe nga lukubirizibwa Pulezidenti Museveni.

 

Oluvannyuma ebyasaliddwaawo byassiddwa mu katabo ka Gavumenti akatongole

(Uganda Gazette) nga September 18, 2019.

 

Wadde aba People Power batandise okussa akabonero ku nkofiira endala, kyokka abakulembeze baabwe beeremye nga bagamba nti okubagaana enkoofiira kigendereddwa kubaggyako ddembe lyabwe.

 

Era bajja kugenda mu maaso n’okwambala obukoofiira.

 

Bannabyabufuzi abeeweze okusigala nga bambala enkoofiira baalumbye UPDF ne bagamba nti ekiragiro kino kubeera kweyingiza mu byabufuzi ebyawulayawula

mu bantu, ekintu ekibagaanibwa Konsitityusoni.

 

Brig. Karemire yalambuludde enkyukakyuka mu byambalo by’amagye okuli yinifoomu, baagi, enkofiira z’oku mutwe, ennyota n’ebintu ebirala ebiraga mu butongole ekitiibwa ky’omujaasi.

 

Enkoofiira ziri mu langi emyufu, bbululu omukwafu, kiragala, enzirugavu ne kakobe. Ebyambalo kuliko; eky’eggye ly’oku ttaka, mu bbanga ne ku mazzi.

 

Aba People Power baatongoza dda obukoofiira obumyufu okuli akabonero ka maapu ya Uganda ng’erimu omusajja awanise omukono ng’afunyizza ekikonde nga kuwandiikiddwako People Power.

 



 

Ate obukoofiira obulala buliko ekifaananyi kya Bobi Wine ate waliwo obuliko akabonero k’essaawa. Aba NRM nabo baakozesa obukofiira bwakyenvu okuli akabonero ka bbaasi ak’ekibiina kya NRM.

 

Abooludda oluvuganya baasooka kwesiba bugoye bumyufu ku mutwe mu kiseera ky’okuteesa ku by’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti mu Palamenti.

 

Ekyaddirira kwambala nkoofiira emyufu ezeefanaanyiriza eza Basiraamu ze baayingizanga mu Palamenti oluvannyuma lw’okuwera obuwero.

 

Baayambala amasuuti amamyufu, ovulo emyufu kyokka nga Bobi Wine y’asinze okutumbula enkofiira emyufu.

 

OKUSANGIBWA N’ENKOOFIIRA YA PEOPLE POWER OSIBWA EMYAKA 7

Etteeka lya Uganda People’s Defence Forces Act, 2005 ligaana omuntu wa bulijjo okwambala, okutunda oba okwolesa ekyambalo kyonna ekyefananyiriziza

ebya UPDF.

 

Ayagala okubyambala asooka kufuna lukusa okuva mu bakulira amagye.

Akawaayiro 164 ak’etteeka kagamba nti omuntu yenna asangibwa ng’ayambadde, atunda oba ng’akozesa ebyambalo by’amagye omuli engoye, enkoofiira ne byonna ebikozesebwa abajaasi nga talina lukusa ajja kuvunaanibwa.

 

Omusango ssinga gumusinga waakusibwa emyaka musanvu.

 

Mu nteekateeka eno, omujaasi ali ku ddaala lya Genero omujjuvu abadde n’ennyota bbiri ku kibegabega ng’afaanana ne Major Genero mu mawanga g’omuliraano.

 

Mu nkyukakyuka ezaakoleddwa Genero agenda kubeera n’ennyota nnya nga bwe kiri mu nsi endala.

 

Mu nkyukakyuka ezaakoleddwa akakoofiira akamyufu(akafaanana aka People Power) kalekeddwa kwambalwa Military Police.

 

EBIRI KU NKOOFIIRA YA UPDF

Enkofiira emyufu eyambalwa abajaasi ba militale. Eriko obubonero okuli emmundu ng’eno ekiikirira eggye lya UPDF ery’oku ttaka nga kitegeeza okukuuma obulungi ensi Uganda nga tewali agitaataganya.

 

Omuzinga: Guno gusalagana n’emmundu mu kabonero akali ku nkofiira era ng’omuzinga guno gutegeeza okukuuma obwengula bw’eggwanga nga tewali abukozesa mu bukyamu.

 

Emmwanyi: Zitegeeza nga Uganda bw’eri ensi y’abalimi

Ekitabo: Eno konsitityusoni y’eggwanga amagye gwe galina okukuuma.Ekitabo kino waggulu kituuliddwako emmundu n’omuzinga nga bino bye bikuuma ssemateeka ono.

 

UPDF: kino kye kigambo ekyawandiikibwa wansi w’akabonero nga waggulu kituddeko ekitabo kya ssemateeka n’obubonero obulala okuli omuzinga n’emmundu ebyetooloddwa emmwaanyi.

 

ABA PEOPLE POWER BAANUKUDDE

 

Joel Ssenyonyi omwogezi wa People Power yagambye nti tebalina buzibu bwonna okuggyako Museveni y’abalinako obuzibu obuva ku maanyi gaabwe ageeyongera

buli olukya.Okwambala enkoofiira emyufu, yagambye nti tekirina ngeri gye kimenyamu mateeka kuba zaawukana nnyo n’eza UPDF era obubonero obuziriko bwanjawulo.

 

“Tewali ayinza kukuyita muserikale olw’okuba oyambadde akakoofiira ka People Power.

Abali mu Gavumenti balekeraawo okubuzaaza”, bwe yagambye.

 

GAFFA MBWATEKAMWA (Mu baka Kasambya) okuwera enkofiira, yakuyise kumala biseera kuba tewakyali muntu asobola kukyusa mitima gya Bannayuganda abaagala enkyukakyuka.

 

Nze ndi Mukatuliki era okungaana okwambala ssapule, tekitegeeza nti ntodde Ashahadu ne nnyingira Obusiraamu. Omuntu ky’ayagala kibeera mu mutima

munda so si ky’alaga kungulu.

 

PATRICK NSAMBA (KASSANDA NORTH)okuwera enkoofiira tekiraga bwenkanya era kimenya ssemateeka kuba kirinnyirira eddembe ly’obuntu.

 

Kyokka ne bwe banaalemerako ne basiba abawagizi baffe tekijja kutumalamu maanyi kuba si kye kisoose. Baagaana Bobi Wine okutegeka ebivvulu nga balowooza nti bajja kumuggya ku mulamwa kyokka yeeyongedde maanyi.

 

MOSES KASIBANTE (LUBAGA NORTH); Abakungu ba Gavumenti mbeewuunya. Kye mmanyi nti enkoofiira kabonero akasindika obubaka bugende ewa Museveni

nga bumutegeeza nti ekiseera kye kyaggwaako dda.

 

Okuwera langi oba tolina kyokoze. Tusobola okusalawo langi yonna ne bw’eba kyenvu

n’ekigendererwa ky’okusindika obubaka. Kati amagye gagenda kuwera buli kintu ekiriko langi emyufu?.

 

FRED NYANZI (akulira banneekolera gyange mu People Power); Ago gebayita amaanyi g’abantu ge tuzze twogerako nti tewali agenda kugayimiriza. Tukimanyi nti akazito kayitiridde ku bakungu ba Gavumenti era bino biragiro bya Museveni kubanga ye

muduumizi ow’oku ntikko.

 

Byonna twabisuubira Gavumenti okubitukola nga tulangiridde okugivuganya

era bino bikyali bitono ku bye tusuubira. Tubadde mu nkiiko ezenjawulo naye tugenda

kufulumya ekiwandiiko ku nsonga eno ng’ekiseera kituuse.

 
NRM EVUDDEYO

Rogers Mulindwa omwogezi w’eggwandiikiro lya NRM yagambye nti eby’okuwera obukoofiira tebyakoleddwa NRM wabula amagye. Yasabye abooludda oluvuganya

okukomya okubeera ekiiso ky’embuzi ekirekerera omussi ne kitunuulira omubaazi, kuba ekintu ekyakoleddwa UPDF ate kibeera kikyamu okukiteeka ku NRM.

 

BANNAMATEEKA KYE BAGAMBA

 

YUSUF NSIBAMBI : Ebyakoleddwa amagye tebigoberera mateeka kuba tewali kabonero katongole katwaliddwa ba People Power era bye baliko bumenyi bw’amateeka.

 

Enkoofiira ekozesebwa ako kabonero akalimu obubaka obusindikiddwa eri abakulembeze naye nga tebugenderera kuyingirira mirimu gya bannamagye.

 

SSALI SSENKEEZI: Mu mateeka ebyambalo bya UPDF biyita mu palamenti ne basalawo ekyambalo ekinayambalwa eggye ly’eggwanga.

 

Bwe kiba nga waliwo ekiraga nti kyambalo kya ggwanga ,abo abakikozesa nga tebafunye lukusa babeera bakikola mu bukyamu.

 

Tekibeera kirungi kukola mateeka nga gatuunulidde omuntu ssekinomu wabula bantu

bonna okutwalira awamu era ng’etteeka eryo lirina okubeera nga lyankalakkalira eritamala gakyusibwa

 

ANTONY WAMELI: Eteeka lya UPDF lirambika bulungi ebyambalo bya UPDF ne bye bakozesa byonna n’olwekyo bwe bagamba nti People Power ekozesa byambalo

bwabwe babeera balimba.

 

GODFREY TURYASIIMA : Gavumenti awo ewubiddwa kubanga langi emyufu akozesebwa UPDF yanjawulo ku ya People Power. Langi emyufu eya People Power

nkwafu nnyo eyawukanya n’eya magye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...