TOP

Rema ayogedde ne Kenzo ku ssimu

By Martin Ndijjo

Added 30th September 2019

REMA Namakula ayogedde ne Eddie Kenzo ku ssimu. Guno gwe mulundi ogusoose okunyumya bukya Rema amusiibula mu butongole ng’agenda ewa Dr. Hamzah Ssebunya gw’ateekateeka okwanjula nga November 14, 2019.

Rema1 703x422

Rema

Bya MARTIN NDIJJO
 
REMA Namakula ayogedde ne Eddie Kenzo ku ssimu. Guno gwe mulundi ogusoose okunyumya bukya Rema amusiibula mu butongole ng’agenda ewa Dr. Hamzah Ssebunya gw’ateekateeka okwanjula nga November 14, 2019.
 
Ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde, muwala wa Kenzo Maya Mirembe Musuuza yajaguzza emyaka munaana. Akabaga kaabadde ku Speke Apartments okumpi ne Africana.
 
Omwana ono yali abeera ne Rema kyokka kati abeera ne nnyina Tracy Nabatanzi.
Nabatanzi ye yategese akabaga kyokka Rema naye yataddemu ssente.
 
Yagulidde omwana ebirabo ne kkeeke bye yagenze nabyo. Kkeeke ssatu ze zaasaliddwa okuli eyaguliddwa Nabatanzi, eya Rema n’eya Kenzo gye yaguze gye yasasudde obuteerevu mu kkampuni emu ezikola.
 enzo Kenzo

 

 
Ku kabaga kano, Kenzo yakubye essimu n’ayogera ne muwala we. Oluvannyuma yayogedde ne Rema ku “WhatsApp video call” era n’amwebaza okulabirira Maya.
“Rema weebale kwagala mwana waffe Maya. Genda mu maaso n’omutima ogwo kubanga Maya amanyi nti ggwe oli maama we.” Kenzo bwe yamugambye.
 
Kenzo yeebazizza abaabaddewo ku kabaga okwabadde eyakazibwako erya ssenga w’abaana Evelyn Namulondo.
 
Rema yasoose kussa bubaka ku mukutu gwe ogwa facebook ng’ayozaayoza Maya okuweza emyaka omunaana n’agamba nti, “On this very day 8 years back a beautiful, intelligent and kind super model was born.
 
Maya Mirembe Musuuza. May Allah protect and guide you always. Love you. Happy birthday ka maama”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.