TOP

Bajjukidde obulamu bwa Ignatius K. Musaazi

By Cathy Lutwama

Added 1st October 2019

Omugenzi Ignatius Kangave Musaazi eyatandikawo ekibiina ky’ebyobufuzi ekyasooka mu Uganda ekya Uganda National Congress (UNC).

Ignatiuskangavemusaazijpg2 703x422

Omugenzi Ignatius Kangavve Musaazi

Bya Lawrence Kizito ne Catherine Lutwama

MINISITA w’Abavubuka Emizannyo n’Okwewumuzaamu e Mengo, Henry Ssekabembe Kiberu akalaatidde Abavubuka okukola ennyo okuyamba abalala, bave mu njogera ya “nfuniramu wa”. 

Bino yabyogeredde ku mukolo ogw’okusabira omugenzi Ignatius Kangave Musaazi eyatandikawo ekibiina ky’ebyobufuzi ekyasooka mu Uganda ekya Uganda National Congress (UNC). Okusaba kwabadde ku Lutikko e Namirembe eggulo nga September, 30th, 2019. 

“Nfuniramu wa atattanye eggwanga lyaffe, ekisse omwoyo gw’okulwanirira abantu abatalina bwogerero. Naye mukimanye nti obuluvu n’okwagala ennyo ebyenfuna byongera kubbika ggwanga lyaffe.” Ssekabembe bwe yalabudde. 

 sekabembe Ssekabembe

 

Yawadde eky’okulabirako kya Musaazi gwe yagambye nti yalwanirira eddembe ly’Abaddugavu n’okwefuga kwa Uganda naye yafa si mugagga, naye nga musanyufu era olwebyo bye yakola erinnya lye kye liva lijjukirwa ennyo na buli kati.

Abazadde yabasabye okukuza abaana obulungi, n’agamba nti Musaazi ateekwa okuba nga yakuzibwa mu mpisa, yagunjulwa ate n’ateekebwateekebwa ekyamusobozesa okuvaamu omuntu ow’amaanyi.

Rev. Canon Benon Kityo nga Diini wa Lutikko y’e Namirembe yagambye nti Musaazi yali musajja alengerera ewala nga kino kyeyolekera mu lutalo lwe olw’okulwanirira omulimi owa wansi, ng’akizudde nti obulimi Uganda kwerina okutambulira.

Musaazi yafa mu 1990 era n'alangirirwa ng'omuzira.

 ev ityo mu byambalo sekabembe naba amire ya usaazi oluvannyuma lwokusaba Rev. Kityo (mu byambalo) Ssekabembe n'aba Famire ya Musaazi oluvannyuma lw'okusaba.

 

 

Musaazi y’aani? 

Ignatius Kangavve Musaazi: Ajjukirwa nga taata w’eggwanga olw’okulwanirira ennyo obwetwa­ze bw’eggwanga era ye mutandisi w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekyas­ooka mu ggwanga ekya Uganda National Congress.  

Musaazi yasi­bibwa emirundi 37 ng’alwanyisa Abazungu, kyokka n’atava ku mulamwa.

Omusika wa Musaazi, Edward Musaazi agamba nti, ku baana 11 Musaazi be yaleka wakyaliwo mukaaga kyokka nga tewali ali mu bya bufuzi.

Edward Musaazi yaliko ssentebe w’eggombolola y’e Na­kaseke ne Kaasang’ombe wakati wa 1993 okutuuka mu 2006 bwe yawummula.

Omulala Elizabeth Musaazi yavuganyaako ku kifo ky’omubaka wa Nakaseke mu palamenti mu 2011 n’awangulwa Rose Namayanja.

Erinnya Musaazi mu byobufuzi kirabika lizikiridde. Musaazi yaziikibwa Kololo ng’omuzira Omusika agamba nti tamanyi lwaki baganda be tebaagala kuyingira bya bu­fuzi.

Nnamwandu wa Musaazi, Rose Nansikombi yategeeza Bukedde Online gye buvuddeko nti tayagala wadde muzzukulu we okufumbirwa munnabyabufuzi byabonyaabobya nnyo famire.

 bamu ku beetabye mu kusaba kwokujjukira usaazi e amirembe Abamu ku beetabye mu kusaba kw'okujjukira Musaazi e Namirembe.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...

Dit2 220x290

Noah Kiyimba asabye abakulembeze...

Noah Kiyimba asabye abakulembeze b'e Butambala okkolera awamu

Ta 220x290

Bannansi beesiga bakulembeze ba...

POLOF. Julius Kizza okuva mu yunivasite e Makerere agambye nti bannansi okumanyisibwa ebifa mu gavumenti tekubeera...