TOP

UNEB emmye amasomero ebikozesebwa mu bibuuzo

By Vivien Nakitende

Added 2nd October 2019

EKITONGOLE kya UNEB, kimmye amasomero ga siniya gonna agataasasula ssente za SESEMAT (Secondary Science And Mathematics Teachers Programme) ebikozesebwa mu kukola ebibuuzo bya UNEB eby’akamalirizo.

Uneb 703x422

Ismail Mulindwa

Bya VIVIEN NAKITENDE

 

EKITONGOLE kya UNEB, kimmye amasomero ga siniya gonna agataasasula ssente

za SESEMAT (Secondary Science And Mathematics Teachers Programme) ebikozesebwa

mu kukola ebibuuzo bya UNEB eby’akamalirizo.

 

Okutuuka ku kino, ekitongole kino kimaze kufuna okusaba okuva mu minisitule y’ebyenjigiriza ng’ebalagira obutabaako ssomero lya siniya lyonna, lye bawa bikozesebwa omuli; empapula abayizi kwe bawandiika ebigezo, Graph n’ebirala ebikozesebwa

mu bigezo bya UNEB nga tebamaze kusasula ssente zino eza SESEMAT.

 

UNEB obutakuwa bikozesebwa bino kitegeeza ekugaanye okukola ebibuuzo kubanga tekkiriza kuwandiika mu mpapula ndala zonna okuggyako ezaayo.

 

Okusinziira ku James Turyatemba, Kaminsona w’ebyenjigiriza ebya sekendule,

omwaka guno 2019, ekitongole kya UNEB kyawandiisizza ebifo ebisukka mu 5,000 eby’amasomero ga siniya awanaatuulirwa ebibuuzo by’akamalirizo, ku bino; 3,596 biri kumutendera gwa O’LEVEL ate 2,161 za mutendera gwa A’ Level.

 

Ku zino ebitundu 1/3 masomero ga gavumenti ate 2/3 ga bwannannyini. 

Jenifer Kalule, omwogezi w’ekitongole kya UNEB yagambye nti; “Twafuna ebiragiro

okuva ew’omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyenjigiriza, ng’atusaba obutawa masomero ga siniya bikozesebwa mu kukola ebibuuzo by’akamalirizo okuggyako nga gamaze okusasula ssente za SESEMAT.

 

Balina nsalessale wa October 11, 2019 okuba nga bamazeeyo ssente ezibabanjibwa. Kye mmanyi minisitule y’ebyenjigiriza eri mu kwogeraganya n’amasomero gano, we kinaatuukira ku bibuuzo tewajja kubaawo ssomero litafunye bikozesebwa bino.

 

Ebibuuzo bya  iniya eyookuna eby’akamalirizo byakutandika wiiki ejja ku Lwokutaano nga October 11, lwe banaabuulirira abayizi. 

 

Ffe nga UNEB ,ssente zino si zaffe era tezisasulwa UNEB, kye twagala ge masomero okutulaga satifi keeti za SESEMAT ezikakasa nti ddala basasudde tulyoke

tubawe ebikozesebwa bino.

 

Ismail Mulindwa,dayirekita w’ebyenjigiriza ebisookerwako n’ebya sekendule, mu minisitule y’ebyenjigiriza yagambye nti enkola ya SESEMAT yatandika mu 2007 mu

kaweefube w’okutumbula amasomo ga ssaayansi n’okubala. “Enkola eno, erimu okutendeka, okuvumbula ebipya n’okuwa emisomo abasomesa ba ssaayansi ebiyamba okukuza

amasomo gano buli mwaka mu luwummula lw’olusoma olusooka.

 

Buli muyizi asasula 1,000/- buli lusoma, omwaka ze 3,000/-, enkola eno erina okugobererwa amasomero ga siniya gonna aga gavumenti n’agatali era twabawa n’olukusa

okuteeka ssente zino mu mabaluwa ge baweereza abazadde n’amasomero ga gavumenti ziteekebwako ku mutemwa gwa buli muyizi.

 

Wabula amasomero gabadde tegazisolooza, ekintu ekikaluubiriza emirimu gya SESEMAT kwe kusalawo okukiteeka ku UNEB era enkola eno etuyambye okuggyayo ssente nnyingi mu masomero.

 

Enkola ya SESEMAT yaleetebwa bannansi ba Japan mu 2007 ne batendeka ekibinja ky’abasomesa abaatwalibwa n’ebweru w’eggwanga okwongera okubangulwa, bano bwe

baakomawo kwe kuteekawo ofi isi ez’enjawulo nabo ne batandika okutendeka abasomesa ba ssaayansi n’okubala abalala.

 

Yusuf Katabira, owa Viena High School e Kabowa; Bino UNEB by’ekoze

bitutaataaganyizza nnyo, ebikozesebwa by’egamba okutumma twabisasulira era ebya SESEMAT tebirina we bikwataganira ne UNEB, tusobola n’okugikuba mu mbuga z’amateeka okutumma ebintu bye twasasulira.

 

Eriyo abakulu b’amasomero ga gavumenti nga baakateekebwa mu masomero ago, kyokka ne

babasaba ne ze babanja mu biseera nga tebanajja ku masomero ago ekintu ekikyamu. Ekibi batusabye ssente z’emyaka emikadde zonna okuva ku mwaka oguwedde okudda wansi

bw’otozisasula toweebwa bikozesebwa, kitutaataaganyizza nnyo.

 

Ekituluma obuweereza bwa minisitule butono tebuvaayo bulungi, baateekawo okutendeka abasomesa mu luwummula lw’olusoma olusooka, naye ate abasomesa babeera mu kukola ‘scheme of work’ ne twesanga ng’abamu tebagenze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira...

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira emmere mu kaabuyonjo

Capture 220x290

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde...

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde abakulembeze obutabayamba

Capture 220x290

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira...

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira gyenvudde we: 'Maama wange yatundanga waragi okunsomesa'

Capture 220x290

Maama wa Sizza Man anoonya mwana...

Maama wa Sizza Man anoonya mwana wa mutabani we.Yadduse ne ssente ezisukka mu kakadde

Abudabudawebusenew 220x290

Alina akawuka ka siriimu akwatibwa...

Bwe mbeera n'akawuka ka siriimu nsobola okukwatibwa endwadde z'ekikaba endala kabootongo?