TOP

Ebya kansala Ssegirinnya Muhammadi bibi!

By Martin Ndijjo

Added 2nd October 2019

Ebya kansala Muhammadi Ssegirinya amanyiddwa nga Eddoboozi ly’e Kyebando’ bibi! Eyali muganzi we amututte mu baamateeka ng'amulanga kumwonoonera linnya.

Wagula 703x422

Goolixy ne Ssegirinya

Jalia Nalumansi amayiddwa nga Goolixy Curx Nalumansi nkuba kyeyo e Sweden eyaliko muganzi wa Ssegirinya y'avudde mu mbeera n'awera okufaafaagana ne Ssegirinya akiikirira Kawempe North mu lukiiko lwa Loodi Meeya, gw’alumiriza okumutyoboola n’okumusalako ebigambo n’ekigendererwa ky’okumwonoonera erinnya ng’ayita ku mikutu gy’amawulire.

Ng’ayita mu munnamateeka we Tumuhairwe Advocates  awandiikidde Ssegirinya ebbaluwa emutegeeza nga bwe bamutwala mu mbuga z’amateeka bamugguleko omusango gw’okwonoonera omuntu we (Goolixy) erinnya era baagala Ssegirinya yeetonde.

Tumuhairwee aggyeeyo n'obutambi Ssegirinnya bw'azze akola ku mikutu gy’amawulire egyenjawulo ng’ayonoona erinnya lye.

 ooya wa ooliyx ngalaga empapula kwe bawandikide segirinnya Looya wa Gooliyx ng'alaga empapula kwe bawandikide Ssegirinnya

Christine Tumuhairwe looya wa Goolixy agamba nti wadde ababiri bano baalina enkolagana eyenjawulo ne batuuka n’okugwa mu laavu, byonna byaggwawo buli omu n'asigala ku bibye kati beewuunya lwaki ye Ssegirinya agenda mu maaso n’okusosonkereza omuntu we ng'amuvuma, okwogera ebigambo ebimulengezza n’okumusalako ebigambo.

Goolixy ali e Sweden mu kwogera naye ku nsonga eno ategeezezza nga Ssegirinya bw'amumazeko emirembe olw’ebyo by'azze amwogerako n'okumukonjera

“Nnejjusa olunaku lwe nnasisinkana Ssegirinya kubanga nnali ndowooza nkolagana na muntu ategeera naye ate ku kino ky'akola ansobedde. Gye buvuddeko ng’ali mu Amerika yankubira essimu ng'ansaba mmusonyiwe tuddemu laavu ne mmwatulira nti sisobola era ne mmugamba anneesonyiwe naye ndowooza ensonyi kati azifudde busungu.

Agenda agamba abantu nti ndi mukyala mukadde abalala nti tammanyi era tandabangako kuno n'agattako n'okunvuma.

 ooliyx aloopye segirinnya Gooliyx, aloopye Ssegirinnya

Kati nze gw’ayita omukadde yali annoonyaako ki? Mmulabe kwegaana lubuto lw’abalongo lwe yanfunisa ng’azze e Sweden naye ku mulundi guno mmaliridde okumutwala mu kkooti tufaafaagane kubanga ebintu bye mbikooye nze ndi mukyala muzadde ate  owoobubuvunanyizibwa era munnabizinesi, sigenda kukkiriza kunswaza na kwonoona linnya lyange nga ntunula," Gooliyx Bwekiri yannyonnyodde. 

Wabula Ssegirinya bwatukiriddwa ku nsonga eno ategezezza nga Goolixy bwayagala okumukolerako amawulire kubanga ne byayogerako tabimanyi.

“Nasemba okumanya ebikwata ku mukyala oyo emyezi munaana emabega era sisobola kumwetondera kubanga by'ayogerako sibimanyi. Yandiba ng'alina ekirala ky'anjagalako kwe kukozesa embeera eno naye njagala ku mukakasa nti mu kiseera kino nnina ensonga ez’amakulu zendiko omuli olutalo lwa ba ‘People Power’ okulaba nga tufuna obuyinza kati sirina budde bwe,” Ssegirinya bw'agasseeko

 

 segirinnya Ssegirinnya

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo