TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 40 basimattusse akabenje ka bbaasi ku lw'e Mityana

40 basimattusse akabenje ka bbaasi ku lw'e Mityana

By Luke Kagiri

Added 3rd October 2019

ABANTU abasukka mu 40 baddusiddwa mu ddwaaliro nga biwala ttaka, oluvannyuma lw’okufuna ebisago eby’amaanyi, mu kabenje ka bbaasi ku luguudo lw’e Mityana. Mu kabenje kano, bbaasi ya kkampuni ya Link nnamba UBF 869 R ebadde eva e Kasese ng’eda Kampala eremeredde omugoba waayo n’eva ku kkubo n’egwa mu luwonko ne yeefuula.

Link1 703x422

Abasaabaze nga bava mu bbaasi ya Link eyagudde mu luwonko.

Bya Luke Kagiri 

ABANTU abasukka mu 40 baddusiddwa mu ddwaaliro nga biwala ttaka, oluvannyuma lw’okufuna ebisago eby’amaanyi, mu kabenje ka bbaasi ku luguudo lw’e Mityana.
Mu kabenje kano, bbaasi ya kkampuni ya Link nnamba UBF 869 R ebadde eva e Kasese ng’eda Kampala eremeredde omugoba waayo n’eva ku kkubo n’egwa mu luwonko ne yeefuula. 

Akabenje kaaguddewo nga bukya ku kyalo Buwalula, ekiri mu gombolola y’e Malangala mu disitulikiti y’e Mityana kuluguudo oluva e Mityana okudda e Kampala. 

Abadduukirize bagambye nti bawulidde bbaasi egwa era bagenze okutuukawo nga balaba abantu balaajana, kwekukubira poliisi eyatutte kabangali yaayo n’ebasomba ng’ebatwala mu malwaliro agaliraanyewo. 

 aawonawo mu ddwaliro e ityana Kaawonawo mu ddwaliro e Mityana.

 

“Twakubidde poliisi eje naye ffe abasoose twabuliddwa ekyokukola kubanga embeera yabadde mbi nnyo. Abantu baabadde bamenyesemenyese nga tetuyina bwe tubatwala, naye oluvannyuma bayambiddwa,” bwatyo Cecilia Namwogezi bwe yagambye. 

Abatuuze akabenje bakatadde ku mugoba wa bbaasi gwe bagamba nti yabadde adduka ndiima. 

Wabula abalala balumiriza nti obudde akabenje wekaagwiridewo bwabadde bwa lufu, ate nga wabaddewo aba bodaboda abeegoba mu luguudo. 

“Wabaddewo aba bodaboda abegoba nga bayisa baasi nayo nga bw’ebayisa. Bwe baatuuse wano, owa bbaasi yayagadde okuwungula aleme kubakoona bbaasi kwekumulemerera n’egwa mu kikko,” bwatyo Banabas Musingo, omu ku baabadde mu baasi eno bwe yagambye. 

 badduukirize nga beetegereza bbaasi gye yagudde Abadduukirize nga beetegereza bbaasi gye yagudde.

 

Abaafunye ebisago abamu batwaliddwa mu ddwaliro lya Gavumenti e Mityana ate abalala ne batwalibwa e Mulago. 

Mu bafunye ebisago mwabadde abakyala ababadde n’abaana babwe kyokka baana bangi bafunye ebiago ebya maanyi.

Omuduumizi wa poliisi e Mityana, Mwene Mukono yeyabadde akulembeddemu basajja be okuyamba abe bisago. 

Mu kino kino wenyini wiiki ewedde wagwayo akabenje, motoka etaategeerekeka bwe yakoona omuntu n’emubetenta. Omuntu ono teyamanyika era ebitundu by’omubiri gwe byapakirwa mu kkutiya okubitwala mu ggwanika lye ddwaaliro e Mityana.

 bakyala nabaana baabwe baasimattuse nebisago nga bali mu ddwaaliro e ityana Abakyala n'abaana baabwe baasimattuse n'ebisago, nga bali mu ddwaaliro e Mityana.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zan13 220x290

Agambibwa okufera abantu emirimu...

Agambibwa okufera abantu emirimu akwatiddwa

Mutu 220x290

Muwala wa munnamagye Kyaligonza...

PAULINE Ntegeka abadde abeera mu Bungereza, ku Lwokutaana yabadde agenda mu kinaabiro n’aseerera n’agwa n’akubawo...

Netherlands1 220x290

Budaaki ewadde Uganda obuwumbi...

EGGWANGA lya Budaaki likubye Uganda enkata ya buwumbi bwa ssente bubiri, ziyambe mu kutumbuka eby’obulambuzi mu...

Mus12 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Masasi1 220x290

Bakutte omujaasi ku kutta aba Mobile...

BULIJJO abantu bamulaba n’ekidomola ky’amazzi ekya kyenvu, nga balowooza nti aguliramu mmere ya bisolo.