TOP

Ssemaka asaze mukazi we obulago lwa ssimu

By Ponsiano Nsimbi

Added 3rd October 2019

POLIISI eri ku muyiggo gwa musajja eyakkakkanye ku mukazi we n’amusala obulago.

Kinaawa1 703x422

Kiconco ng'apooca n'ebisago bye.

Bya PONSIANO NSIMBI

POLIISI eri ku muyiggo gwa musajja eyakkakkanye ku mukazi we n’amusala obulago.

Denis Byaruhanga omukozi wa bbagiya yanonyezebwa poliisi olwokukakana ku mukazi we Peace Kiconco 26 namusala obulago nekigendererwa eky’okumutta ng’entabwe eva ku ssimu.

 Bano batuuze b’e Kinaawa Cell mu Kyengera Town Council ng’ettemu lino lyabaddewo mu kiro ekyakeeseza Olwokuna.

Phionah Kobusingye muganda wa Kiconco gwe baabadde basula naye mu nnyumba yategeezezza nti, ku Lwokusatu Byaruhanga yasoose kubuzaawo ssimu ya Kiconco nga wano wewavudde obutakkaanya ne batandika okuyomba.

 muzigo abafumbo bano mwe babadde basula Omuzigo abafumbo bano mwe babadde basula.

 

Kobusingye yagambye nti yagenze okudda engulu ku ssaawa 9:00 ogw’ekiro ng’awulira muganda we ayazirana wakati mu kitaba ky’omusaayi ogwabadde gumufubuutuka mu bulago nga n’ejjambiya eyakozeseddwa eri ku mabbali kwe kulaya enduulu eyasombodde abatuuze.

Lydia Nassiwa landi loodi wa bano yategeezezza nti abantu bano babadde baakamala ku nnyumba ze ennaku ssatu zokka kyokka ng’abadde talina kyabamanyiko okujjako okumanya nti baava mu bitundu by’e Nateete. Nassiwa yakubidde poliisi y’e Kyengera eyatutte Kiconco e Mulago gyali okujanjabibwa.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirano, Patrick Onyango yakakasizza ettemu lino n’ategeeza nti batandikiddewo omuyigo gwa Byaruhanga nga bwanakwatibwa wakuggulwako omusango gw’okugezaako okutta omuntu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana