TOP
  • Home
  • Amawulire
  • KCCA etandise okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti

KCCA etandise okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti

By Hannington Nkalubo

Added 3rd October 2019

KCCA etandise okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti ku basibe abaggalirwa ku misango gy’okutundira ebyamaguzi ku nguudo n’okutembeeya mu kibuga kyokka munnamateeka w’ekitongole yategeezezza nti tebavunaanyizibwa ku basibe abaasalirwa edda ebibonerezo.

Kcca 703x422

Bakansala nga bateesa. Ayogera ye Moses Kataabu owa Kampala Central.

Bya HANNINGTON NKALUBO
 
KCCA etandise okussa mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti ku basibe abaggalirwa ku misango gy’okutundira ebyamaguzi ku nguudo n’okutembeeya mu kibuga kyokka munnamateeka w’ekitongole yategeezezza nti tebavunaanyizibwa ku basibe abaasalirwa edda ebibonerezo.
 
Caleb Mugisha akulira bannamateeka mu KCCA yagambye nti abaasalirwa edda ebibonerezo bavunaanyizibwaako kkooti n’ekitongole ky’amakomera ekibalina, kyokka mu wiiki emu bagenda kuba emitendera gyonna bagikozeeko.
 
Bino babikkiriziganyizzaako mu lukiiko lwa KCCA olwatudde ku City Hall eggulo nga lwakubiriziddwa Loodi Meeya Erias Lukwago.
 
Lukwago yagambye nti azze ayogera ku kukwata abasuubuzi obubi n’okubakwatira ebweru w’amateeka kyokka ng’abaserikale tebawuliriza.
 
Okusooka yayombye nti lwaki Pulezidenti Museveni talabawo ofiisi ye ate nga y’akulira ekibuga kubanga ebiwandiiko byaweereza mu KCCA tebamuwaako kopi ne baziweerezza akola nga dayirekita Andrew Kitaka.
 
EBIRALA EBYATEEKEDDWAAKO
 
Olukiiko lwasambazze ebbaluwa y’omuyambi wa pulezidenti Lucy Nakyobe eyabadde eragira KCCA ebawe ekitundu ky’ettaka ly’abavubuka e Kansanga basomesezeewo abantu okukola emirimu egyenjawulo.
 
Olukiiko lwakiwakanyizza ne bategeeza nti ofiisi ya pulezidenti bw’eba erina byeyagala okukolera ku ttaka lya KCCA eteekwa kukolagana ne KCCA naye si kusaba ttaka ng’abaagala okulitwala.
 
Baategeezezza nti olukiiko olubadde lugaba olukusa lw’okulangira mu Kampala luyimirizibwe ensonga zikolebweko akakiiko akakola ku kutegekera Kampala.
 
Ne nnannyini kkampuni eyali evunaanyizibwa ku kipande ekyakuba abantu ku
katale e Wakaliga babavunaane.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...