TOP

Winnie Nwagi aliyiridde hawusigaalo gwe yakubye

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd October 2019

Omuyimbi Winnie Nwagi kyaddaki apondoose n'akkiriza okuliyirira hawusigaalo we gwe yakubye n'okusasula sente z’obujjanjabi.

Nwagi4 703x422

Gonza nga akwasa Naggayi ssente. mu katono ye Nwagi

George Gonza maneja wa Winnie Nwagi  olw’eggulo lwa leero agenze e Nansana- Gganda ku ddwaaliro lya Salama Memorial Medical Centre gy’asisinkanye Scovia Naggayi  alumiriza Nwagi okumukuba nayisibwa bubi nnyo ne bamuwa n’ekitanda okulaba nga bagonjoola ensonga.

Asasudde emitwo 24 ez’obujjanjabi  zino bazikwasizza omusawo  ate ye Naggayi bamuwadde emitwalo 75 olw’obuvunene n’ebintu bye Nwagi bye yayoonona okuli leediyo n’okumuyuliza engoye.

 aggayi ngalaga ssente zebamuwadde Naggayi ng'alaga ssente zebamuwadde.

Ye Musa Byandaala eyafunira Nwagi omukozi era nga ye yamututte ne muddwaaliro bamuwadde emitwalo 10.

Bano era bakiriziganyiza Naggayi okuggyayo omusango ku poliisi. Oluvannyuma buli ludda lutegezezza nga buli omu bw’asonyiye munne kyokka kyokka Naggayi aganye eky’okuddayo okukola ewa Nwagi.

Ku Lwokutano lwa wiiki ewedde, Naggayi yaddukira ku poliisi y’e Kikaaya gye yaloopa Nwagi omusango gw’okumukuba  n’okumuyuliza engoye oguli ku fayiro SD Ref: 20/ 25/09/ 2019.

 onza ku ddyo nga asasula omusawo ssente Gonza ku ddyo nga asasula omusawo ssente.

Yategezza nga Nwagi bwe yamukubisa eccupa n’ayisibwa bubi ng’amulanga kwemakula nagenda ne ccupa ye (eya Nwagi) ey’amazzi mu ddwaaliro nga tasoose kumusaba

Naggayi amazze mu ddwaaliro e nnaku etano ddwaaliro buli lunaku abadde alajjanira Nwagi okumuwa ssente z’obujjanjabi nga Nwagi tamuddamu.

Kituufu Winnie Nwagi alina empisa embi?

Winnie Nwagi bamutaddeko akazito ku by’okukuba hawusigaalo

 

Omukozi wa Nwagi abanjibwa za ddwaaliro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.