TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Abankwatirwa obuggya balinga akabwa akaboggolera enjovu'

'Abankwatirwa obuggya balinga akabwa akaboggolera enjovu'

By Deo Ganyana

Added 5th October 2019

Abankwatirwa obuggya balinga akabwa akaboggolera enjovu kuba bw’eba erina w’eraga nga waliwo akabwa mu maaso ne bwe kaboggola katya, enjovu esigala esonga busonzi mu maaso n’awunzika nti Bugingo alinga njovu mu kiseera kino mu kisaawe ky’okubuulira enjiri.

Buji9 703x422

Nga tannalinnya ku katuuti waasooseewo abasumba okwabadde ne Simeon Kayiwa eyazze ne mukazi we Celia Kayiwa.

Kayiwa mu kubuulira yagambye nti kuno ku nsi obuggya bungi kumpi buli muntu akwatirwa munne obuggya.

“Nze ngenda kuweza emyaka 42 nga ndi mu njiri naye abantu bankwatiddwa obuggya wabula nsonyiwa era abo, Bugingo basonyiwe”.

Yagambye nti abakwatirwa Bugingo obuggya balinga akabwa akaboggolera enjovu kuba bw’eba erina w’eraga nga waliwo akabwa mu maaso ne bwe kaboggola katya, enjovu esigala esonga busonzi mu maaso n’awunzika nti Bugingo alinga njovu mu kiseera kino mu kisaawe ky’okubuulira enjiri.

Bugingo nga tannalinnya katuuti yasoose kwetoloola kisaawe ng’awuubira abantu nga nabob we baanukula n’okuwuuba obutambaala obweru n’ebitabo bye baakazaako “Vision Book” mwe bawandiika ebiruubirirwa byabwe bye baagala Katonda abakolere.

Oluvannyuma Bugingo yagenze mu muddo gw’ekisaawe wakati n’agwa wansi ng’avuunise omutwe n’amala eddakiika nga ttaano ng’asa ate oluvannyuma ne yeevuunula n’atunula mu bbanga era n’agenda mu maaso n’okusaba.

Oluvannyuma yavuddewo n’afukamira era awo amaziga gaabadde gamuyitamu nga geetabise n’entuuyo, n’aggyayo akatambaala akeeru okwesangula mu maaso nga bw’ayongera okusaba.

Oluvannyuma yalinnye akatuuti n’asimbula enjiri ng’aduumira endwadde, obwavu n’ebizibu ebirala bive mu bulamu bw’abantu bafune obulamu obulungi.

Akatuuti yakalinnye ku ssaawa 6:15 ez’ekiro wakati mu nduulu eraga obuwagizi okuva mu bagoberezi be.

alt=''
 
alt=''
alt=''

 
 
 
 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...