TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Munnayuganda ayawuliddwa ku budiikoni bw’Eklesia

Munnayuganda ayawuliddwa ku budiikoni bw’Eklesia

By Musasi wa Bukedde

Added 6th October 2019

MUNNAYUGANDA George Balinnya yayawuliddwa okufuuka Dikoni oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo mu by’enzikiriza mu Aristotle University mu kibuga Thessaloniki e Buyonaani.

Kola1 703x422

Dikoni George Balinnya ( ku ddyo) nga yaakayawulibwa ku kitiibwa kino. Ku kkono ye, Viika wa Klesia y’Abasodokisi mu Uganda, Rev. Fr. Paul Mutaasa naye eyeetabye ku mukolo guno.

Omukolo ogw’okumwawula gwabaddewo nga August 25, 2019 mu Klesia y’omutukuvu Fotios mu kibuga Thessaloniki nga gwakolebwa Bp. Anthimos ow’ekibuga Thessaloniki ne Bp. Stephanos owa Kabala, Filipon ne Thasos nga bano bamwebaza olw’okwewaayo okumaliriza emisomo n’okwagala Katonda.

Yasabiddwa okwagala Katonda kubanga y’ensibuko, okwekwata abatukuvu ba Klesia okusingira ddala nnyina Katonda Maria era n’okukola n’amaanyi okunyinyitiza obuminsani mu Uganda ng’asaasaanya enjiri y’Obusodokisi.

Ono yasooka kusoma busomesa bw’okubala ne Physics ku yunivasite e Ndejje wano mu Uganda kw’agasse ddiguli eyookubiri mu by’eddiini ekintu kye yagambye nti, kigenda kumuyamba mu buweereza bwe.

Omukolo guno gwetabwako ne Viika w’Eklesia y’Abasodokisi mu Uganda, Rev. Fr. Paul Mutaasa ng’ono yategeeza nga kino bwe kyongedde amaanyi mu mirimu gya Klesia mu Uganda era n’amusaba okubeera ekyokulabirako.

Obudikoni ly’eddaala erisooka mu bwawule bw’Eklesia nga liddirirwa Obufaaza ng’erisembayo mu kwawulibwa lya Bisopu olwo ebitiibwa ebirala ebiddako bubeera buvunaanyizibwa obukolebwa oyo abeera abuweereddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Capture 220x290

Ab'abaana abasatu basiibuddwa mu...

Ab'abaana abasatu basiibuddwa mu ddwaliro: Balaajanidde abazirakisa okubadduukirira

Lip3 220x290

Ogw'okutta Mozey Radio gw'akusalibwa...

Ogw'okutta Mozey Radio gw'akusalibwa nga 28 omwezi guno

Nabakoobaweb 220x290

Mwenyigire mu mirimu egivaamu ssente...

Yagambye nti kaweefube gw’aliko ow’okugoba obwavu mu maka asobola okutuukirira ng’abantu bamujjumbidde n’okussa...