TOP

Bakoze ekikwekweto ku mmotoka ez'ebbeeyi

By Samuel Balagadde

Added 6th October 2019

EKITONGOLE ky’omusolo ekya URA kikoze ekikwekweto ku mmotoka ez’ebbeeyi okuli n’eziriko nnamba z’amawanga ag’omuliraano eziri mu ggwanga mu bukyamu.

Take 703x422

Ezimu ku mmotoka ezaakwatiddwa.

Mmotoka zino ezisukka mu 50 okusinga ziri mu bika bya Range Rover Vogue ne Sport eziriko nnamba z’amawanga ag’ebweru nga layisinsi ezizikkiriza okutambulira ku nguudo za Uganda zaggwaako ate ng’endala ziteeberezebwa okuba nga zabbibwa mu Bungereza.

Vincent Seruma, omwogezi wa URA yategeezezza nti waliwo n’emmotoka eziriko nnamba emmyuufu nga zino za Bannayuganda ababa baakomawo okuva wabweru w’eggwanga nga babadde nazo okumala ebbanga erisukka mu mwaka nga teziweerwanga musolo zaakwatiddwa kuba abamu babadde bazitunda nga tebamaze kutemya ku URA.

Mmotoka bwe ziva mu mannya gaabo abaazireeta ziba zirina okwanjulibwa mu URA ne zigerekerwa omusolo okusinziira ku mbeera gye ziba zirimu oluvannyuma ne ziweebwa nnamba ppuleeti ezaabulijjo.

Agnes Nabwire akulira ebikwekweto ebifuuza ababbirira omusolo mu URA yagambye nti ezimu ku mmotoka zino bannannyini zo balina okulaga obukakafu nti zaabwe era bwe kinaabalema zaakutundibwa ku nnyondo n’endala zizzibweyo mu mawanga gye ziteeberezebwa okuba nga gye zabbibwa.

Mmotoka okuli nnamba ppuleeti ez’amawanga ag’omuliraano agali mu mukago gw’Obuvanjuba bw’Africa (East African Community) nga bannannyini zo balina okuzizzaayo, ziweebwa ekiseera kya myezi esatu okubeera mu Uganda.

Buli mmotoka ebeera erina okusasula omusolo ogw’okweyambisa enguudo za Uganda gwa ddoola z’Amerika 20 buli mwezi ng’emyezi esatu bwe giggwaako, nnannyini yo alina okuziweera omusolo ne zissibwako nnamba puleeti za wano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano

Babiryecuttt 220x290

Tunoonya abasajja ateemotyamotya...

Twagala abasajja abamalirivu nga tebeemotyamotya batuwase. Tetwagala bayaaye.

Uganda4 220x290

Onyango n'abawagizi basiimye ebitone...

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw’okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

Villapolice04 220x290

Villa ekaabirizza Onduparaka omwayo...

Ggoolo ya Emma Kalyowa mu ddakiika eyookutaano, Faizol Muwawu (14) ne Fahad Bardiro (91), ze ziyambye Villa okuwangula...