TOP

Basanze omulambo gw’omutuuze mu ffumbiro

By Sarah Zawedde

Added 7th October 2019

ENFA ya nnamukadde (60) eyasangiddwa obukunya mu ffumbiro ng’afudde yeeraliikirizza abatuuze ne batandika okulowooza nti yatemuddwa.

Musoki 703x422

Amaka ga Musoki (mu katono) eyafudde.

Bya SARAH ZAWEDDE
 
ENFA ya nnamukadde (60) eyasangiddwa obukunya mu ffumbiro ng’afudde yeeraliikirizza abatuuze ne batandika okulowooza nti yatemuddwa.
 
Betty Musoki yasangiddwa mu ffumbiro lye ku Ssande ku ssaawa nga 1.00 ez’oku makya mu Kulumba zooni e Bwaise ku luguudo lwa Kolaasi oluva ku Avisi okudda e Kawempe Ttuula.
 
Omulambo gwasangiddwa guvaamu omusaayi mu kamwa guli bukunya nga n’akawale k’omunda ne ngoye ze biwanikiddwa waggulu ku mabbali.
 
Ku mmabbali waabaddewo essimu ye, ssabbuuni, ekyangwe ne bbaketi y’amazzi agaayiise ku ttaka ne gakola ekitaba mwe yabadde agalamidde.
 
Ku masiga kwabaddeko ebbika nga kirabika yabadde afumba caayi kyokka ng’effumbiro lyabadde liggule.
 
Wabula, abavubuka babiri abaabadde basula ne Musoki mu nnyumba okuli mutabani we Joshua Mbaziira ne Andrew Mumbere, omwana wa mwannyina James Matte omuserikale, poliisi yabakutte bayambeko mu kunoonyereza ku kufa kw’omuntu ono.
 

 

Nabo baategeezezza nti ebyabaddewo baabitegedde bababikira.
 
Ssentebe w’ekitundu kino, Musa Sembajjwe yagambye nti ow’ebyokwerinda ye yamutegeezezza nga Musoki bwe yasangiddwa ng’afiiridde mu ffumbiro era n’ayita poliisi.
 
Musoki abadde abeera mu maka ga kitaawe, omugenzi Andrew Muhindo nga yabadde landiroodi ku mayumba gaabwe ge baasikira ng’abaana abawala, oluvannyuma lwa baganda be okugamulekera nga y’alabirira awaka waabwe.
 
Poliisi y’e Kawempe yaleese embwa ekonga olusu n’ewunya ku mulambo oluvannyuma n’egoba ekkubo erya kkoolaasi kyokka n’esibira ku bbagiro mu Kisenye we bayita mu Juba nga we yakomye n’etula ku ttaka.
 
ABENGANDA SI BAMATIVU
Magaret Lukodo nnyina wa Musoki omuto agamba nti tannaba kumatira na nfa ya muwala we ono kubanga buli kiseera abadde mweraliikirivu ng’amubuulira ng’obulamu bwe bwe buli mu kutya olw’abaana b’abeera nabo abamwefuulira nga baatuuka n’obutamubuuza.
 
Yagambye nti baakoma okuba bombi ku Ssande ewedde mu kibiina kyabwe eky’okwekulaakulanya e Nabweru.
 
Lukodo agamba nti yabaleka ng’olukiiko lukyagenda mu maaso n’adda awaka gye yalina abalwadde babiri.
 
Yagambye nti yabadde agenda kumusisinkana ku Ssande ayongere okumulambululira ebyali mu lukiiko ate yafunye mawulire nti yafudde. Agamba nti wabaddewo obutakkaanya ng’abaana abalenzi abaafuna ekitundu kya waggulu balina engeri gye baagala okunyigirizaamu abawala abaafuna ku luguudo nga baagala okutunda.
 
TUBADDE N’ENTEEKATEEKA Z’OKUSABIRA TAATA
Monica Kabugho muto w’omugenzi yagambye nti babadde n’enteekateeka z’okusabira omwoyo gwa kitaabwe omwezi ogujja era ng’omugenzi abadde musaale mu ntegeka zino.
 
Wabula Monica yagambye nti Betty abadde ne puleesa nga bwe baamubikidde yalowoozezza nti ye yamukubye n’afa kikutuko.
 
Micheal Tembo mwannyina w’omugenzi eyabasikira yagambye nti muliraanwa naye tebalina kintu kyonna kye bawulidde ekiro beekanze ku babikira kyabadde kituuseewo.
Poliisi ya Kawempe yagguddewo omusango gw’obutemu ku fayiro SD: 09/06/10/19.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...