TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Esther ne Ezekiel abawangudde eza ‘East Africa Got Talent’ bayiiseemu obukadde 184

Esther ne Ezekiel abawangudde eza ‘East Africa Got Talent’ bayiiseemu obukadde 184

By Musasi wa Bukedde

Added 7th October 2019

ABAANA b’omuyimbi Julie Mutesasira bawangudde empaka z’okulaga ekitone ne bawanika bendera ya Uganda.

Estherandezekeil703422 703x422

Esther Mutesasira, 14, asoma S1 ku Hana International School ne Ezekiel Mutesasira, 11, asoma P4 ku Hormisdallen e Kamwokya nga baana b’omusumba Steven Mutesasira n’omuyimbi Julie Mutesasira baawangudde empaka za ‘East Africa Got Talent’ ne basitukira mu doola 50,000 mu za Uganda obukadde 184.

Obukugu, obuvumu ku siteegi n’amaloboozi gaabwe amaseeneekerevu bye bimu ku byayambye bamusaayimuto bano abaakiikiridde Uganda mu mpaka ezibadde ziyindira e Nairobi mu Kenya nga zeetabiddwaako bannabitone okuva mu mawanga g’omu buvanjuba bwa Afrika.

Esther ne Ezekiel abaayimbye okukira ennyonza baacamudde abalabi bakira ababakubira enduulu.

Abasazi b’empaka okwabadde Vanessa Mdee, Jeff Koinange, Gaetano Kaggwa ne Makeda Mahade nabo kyabayitiriddeko okukkakkana nga basituse ne babakubira mu ngalo ng’akabonero k’okubasiima Baamezze abalala bataano bwe baatuuse ku z’akamalirizo okwabadde; Bannayuganda abazinyi b’ekibiina kya ‘Dance Alliance Network’ (DNA) n’abavubuka ba Jehovah Shalom Acapella.

Abalala kwabaddeko abayimbi; Janelle Tamara ow’emyaka 9 okuva e Kenya (yakutte kyakusatu) ne Spellcast Media ssaako abazinyi b’amazina g’ekinnansi okuva e Rwanda aba Intayoberana abaamalidde mu kyokubiri.

OKUYIMBA KITONE KYA FAMIRE

Oluvannyuma lwa Julie Mutesasira okugenda e Canada gy’abeera, abaana bano kati babeera ne taata waabwe Paasita Steven Mutesasira owa Anointed Upper Room Church e Kamwokya.

Bwe yatuukiriddwa ku ssimu ku buwanguzi buno yasoose kugamba nti “Katonda wa maanyi era bw’omusaba addamu essaala yo…”

PULEZIDENTI ABAYOZAAYOZEZZA

Amangu ddala nga baakalangirirwa ku buwanguzi, Pulezidenti Museveni ng’ayita ku mukutu gya ‘social media’ yabaweerezza obubaka obubayozaayoza n’okubakulisa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...