TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaagalana basoowaganye omukazi n'ateekera ennyumba omuliro n'adduka

Abaagalana basoowaganye omukazi n'ateekera ennyumba omuliro n'adduka

By Joseph Mutebi

Added 8th October 2019

ABAAGALANA e Nateete bafunye obutakkaanya omukazi n’akuuma ku nnyumba yaabwe omuliro n’esaanawo.

Burntbyjmutebi6 703x422

Rihana ne Bogere. Ennyumba eyayokeddwa ng’esaanyeewo.

Frank Bogere 22, omutuuze w’e Nateete Kitaka zooni ye yafunye obutakkaanya ne muganzi we gw’abadde amanyiiko erya “Rehana” wadde ng’abadde amaze naye ebbanga lya mwaka gumu n’ekitundu.

Yagambye nti yabadde yaakatuuka ku poliisi e Nateete ku ssaawa 4:00 ez’oku makya ne bamukubira essimu nti omukyala ayokezza ennyumba ebintu byonna ne bisirikkira mu muliro.

“Rehana namukwana mwagala wabula omwaka ogumu gwe mmaze naye abadde annemye, kwe kusalawo okuddukira ku poliisi y’amaka e Nateete ennyambeko twawukane.” Bogere bw e yategeezezza.

alt=''

Yagambye nti omukazi abadde asusse obwenzi nga bw’amugambako amusanga akutte ebiso amufumite. 

Omu ku bakakiiko mu Kitaka zooni e Nateete, Abdul Mbowa yagambye nti Rehana yawaabidde Bogere mu kakiiko kaabwe ku Ssande ng’agamba nti amutulugunya kyokka kyababuuseeko ng’omuwala eyawaabye akuma ku nnyumba omuliro.

Yawadde abavubuka amagezi okuwasanga abawala nga bamanyi amaka mwe babagye beewale emitawaana nga egyo.

Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owesigyire yagambye nti batandise okuyigga omuwala ono era essaawa yonna ajja kukwatibwa abitebye.

Yagambye nti poliisi egezezzaako okutaasa ebintu kyokka ebyembi omuliro gubadde gwasaasaanye dda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...