TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agambibwa okwagala okwokya Mitchel Hall e Makerere akwatiddwa

Agambibwa okwagala okwokya Mitchel Hall e Makerere akwatiddwa

By Eria Luyimbazi

Added 8th October 2019

POLIISI ekutte omuyizi wa Yunivasite e Makerere ku bigambibwa nti yabadde alina olukwe lw’okowkya ekisulo kya Mitchell Hall mwe babadde baamugobye oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya n’akikulira.

Lumumba1 703x422

Omuserikale ng'awerekera Balonda oluvannyuma lw'okukwatibwa

Bya Eria Luyimbazi

POLIISI ekutte omuyizi wa Yunivasite e Makerere ku bigambibwa nti yabadde alina olukwe lw’okowkya ekisulo kya Mitchell Hall mwe babadde baamugobye oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya n’akikulira.

Polly Balunda  asoma obusawo ng’ali mu mwaka 5 yeyakwatiddwa abaserikale okuva ku poliisi ya Yunivasite oluvannyuma lw’okutemezebwako akulira ekisulo kya Mitchell Hall, Frank  Mugizi  nga  Balonda bwe yabadde atiisizza okwokya ekisulo kino mwe babadde baamugoba.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti okukwata Balonda kyadiridde okufuna okwemulugunya okuva ku avunaanyizibwa ku kisulo kya Mitchell nga bwe yabadde alemedde mu kisulo so nga yabadde amulagidde okufuluma  oluvannyuma lw’okugwa ebigezo 3 nga yabadde alina okwesasulira natiisa okwokya ekisulo.

“Twafunye okwemulugunya okuva ewakulira ekisulo kya Mitchell Hall Mugizi  nti  Balonda yabadde amutiisizatiisiza okwokya ekisulo kino ate nga yamufunako amawulire nti ekisenge mwabadde asula abadde akikozesa ebintu ebirala era abaserikale ne bagenda n'akwatibwa ne baabako ebintu ebyobulabe bye basanzeeyo” Onyango bwe yategezezza.

 bizibiti ebyasangiddwa mu room ya alonda Ebizibiti ebyasangiddwa mu room ya Balonda.

 

Yagambye nti Balonda oluvannyuma lw'okugwa ebigezo 3  yabadde alina okuva mu kisulo abayizi abapya bayingire wabula n'alemeramu kuba omuyizi aba agudde ebigezo alina okwesasulira aw'okusula nga n’ekiseera kye okubeera mu kisulo kino kyabadde kiweddeko.

Yategeezezza nti omuwala eyasangiddwa ng'azirise mu kisenge Balonda mwabadde asula yaddusiddwa mu ddwaaliro okusobola okufuna obujanjabi nga kiteeberezebwa nti yabadde akozesezza ebiragala  nga kino kikakasa okwemulugunya kw’alabirira ekisulo kino nti Balonda abadde akozesa ekisenge kino mu bintu ebitasaana.

 Yagaseeko nti Balonda yagguddwaako omusango gw’okutisatiisa okutuusa obulabe ku muntu nga mu kiseera kino akuumirwa mu kaduukulu ka poliisi y'e Makerere ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...