TOP

Munone abaana bammwe nga baakamaliriza ebibuuzo

By Musasi wa Bukedde

Added 8th October 2019

Omubaka Johnson Ssenyonga alabudde abazadde okukima abaana baabwe ku masomero nga baakamaliriza ebibuuzo byabwe babazze eka baleme okwejjusa olw'ebyo ebiyinza okubatuukako nga babalese okuleereeta ku byalo.

Abamukubazaddeababaddebeetabyekumukologwokusabiraabaanabaabwewebuse 703x422

Abazadde abaabadde mu kusabira abayizi

Bya Joanita Nakatte

Omubaka wa Mukono North, Johnson Muyanja Ssenyonga akubirizza abazadde okukima abaana baabwe ku masomero naddala aba siniya eyoomukaaga n’eyookuna amangu ddala nga bamalirizza ebigezo okwewala ebiyinza okuva mu kubaleka okutaayaayiza mu makubo.

 mubaka senyonga ngayogera eri abayizi nabazadde Omubaka Ssenyonga ng'ayogera eri abayizi n'abazadde

 

Bino yabyogeredde ku mukolo ogw’okusabira abayizi abagenda okukola ebigezo by’akamalirizo ku ssomero lya St. Johns High School.

Yakuutidde abazadde okuba ab’obuvunaanyizibwa eri abaana baabwe ate era babawe n’obudde obumala mu luwummula luno okubaako bye babayigiriza n’obutabalekera bakozi abayinza okubakyamya.

“Abaana mubabuulirire bakule n’empisa ezijja okubayamba okuvvuunuka n’okweng’anga ebizibu ebiboolekedde nga bakula, Ssenyonga bwe yalabudde abazadde.

Omubuulizi eyakulembeddemu okusaba kuno, Jackson Matovu yasabye abayizi okusooka okukkakkana n’okwetegereza ebibuuzo, kibasobozese okubitegeera n’okubiddamu obulungi.

 mubuulizi wa entral uganda eyawummula ackson atovu ngabuulira Omubuulizi wa Central Buganda eyawummula, Jackson Matovu ng'abuulira

 

“Ebibuuzo temubiddamu mu ngeri ey’okupakuka, twala obudde osooke weetegereze ekibuuzo ekikubuuziddwa osobole okukivvuunula obulungi,” Omubuulizi Matovu bwe yannyonnyodde.

Yakubirizza abazadde okwenenya embeera zonna eziyinza okukyamya abaana baabwe okuli okuyomba, okulwanagana n’okuvumagana mu maaso gaabwe ng’ekkubo ery’okukuza obulungi omwana w’eggwanga era nabo basobole okubaganyulwamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsonga 220x290

FUFA etongozza kampeyini ya AFCON...

FUFA etongozza kkampeyini ya Uganda okugenda mu Africa Cup of Nations e Cameroon omwaka ogujja ne bateekawo engombo...

Fufaafconprepsoct23bukedde6 220x290

Cranes yaakutambulira mu Bombardier...

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso...

Capture 220x290

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...