TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekibadde ku mikolo gy'Ameefuga ag'emyaka 57 e Sironko

Ekibadde ku mikolo gy'Ameefuga ag'emyaka 57 e Sironko

By Musasi wa Bukedde

Added 9th October 2019

PULEZIDENTI Museveni agambye nti abantu ba Africa bonna bafaanagana newankubadde balina ebika bingi ebibagatta, kyokka buli omu aliko akalandira akamuyunga ku mulala.

Wuuma22 703x422

Ekibadde ku mikolo gy'Ameefuga ag'emyaka 57 e Sironko

PULEZIDENTI Museveni agambye nti abantu ba Africa bonna bafaanagana newankubadde balina ebika bingi ebibagatta, kyokka buli omu aliko akalandira akamuyunga ku mulala.

Museveni yeebazizza Pulezidenti wa Zimbabwe Emmerson Mnangagwa olw’okusituka n’ajja mu Uganda okulambula ku booluganda lwe abali wano mu ‘Great lakes region’ ne Uganda weesangibwa.

“Ku lwange ne Bannayuganda bonna nkutikka obubaka obututuusize eri ffamire ya Muzeeyi Robert Mugabe n’abantu ba Zimbabwe” Museveni bwe yatumye mukulu munne, n’ategeeza nti Mugabe yakola omulimu munene okununula Zimbabwe nga kisaana okumujjukira kubanga abafuzi b’amatwale baamusibako mu kkomera n’amalayo emyaka 10.

Olwamaze okwogera ebyo asaba abaabadde ku mukolo bayimirire era basiriikirire okumala eddakiika nnamba okujjukira Mugabe.

Mugabe yafuga Zimbabwe okumala emyaka 37 wabula Mnangagwa eyali omumyuka we ng’ali n’amagye baamuwamba mu November wa 2017.

Mugabe yafi iridde Singapore ku ntandikwa ya September.

Museveni olwamalirizza okwogera n’ayambaza Mnangagwa omudaali era naye n’agukkiriza ku lulwe ne ku lwa bannansi ba Zimbabwe ng’agamba nti kano kabonero akongera okwoleka n’okunyweza enkolagana ennungi Uganda gy’erina ne Zimbabwe.

Bino byonna byabadde ku mikolo gy’okukuza ameefuga ga Uganda aga 57 mu disitulikiti y’e Sironko.

Pulezidenti bwe yabadde atandika okwogera yategeezezza nti Mnangagwa yajja mu Uganda mu 1966 bwe yali adduka ku bazungu agende e China okutendekebwa mu by’ekijaasi ekintu ekiraga nti enkolagana ya Uganda ne Zimbabwe evudde wala. Yamuyise ajje abuuze ku bantu n’okubawa ebigambo ebiwabula.

alt=''

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

alt=''
alt=''
alt=''
alt=''
alt=''
alt=''

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...

Godfreybangirana678381 220x290

Kkooti eragidde ofiisa wa poliisi...

KKOOTI enkulu ewozesa emisango gy’engassi eragidde dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikola ku by’okugula ebikozesebwa...

Abamukubaakwatiddwa3 220x290

Poliisi ekutte 30 mu kikwekweto...

Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu zooni yategeezezza nti obumenyi bw’amateeka buba ng’obukendeeramu mu kitundu...

Kawesi 220x290

Abavunaanibwa mu gwa Kaweesi beeyanjudde...

Bano baali baakwatibwa oluvannyuma lw'ettemu mu bitundu by'e Kkulambiro gye battira omugenzi Kaweesi mu 2017.